• Latest
  • Trending
  • All
Eno ye Ntanda – Akabimbi akatono Kakira ekyosi

Eno ye Ntanda – Akabimbi akatono Kakira ekyosi

October 12, 2023

Omubaka wa Germany mu Uganda H.E Mathias Schauer yeyanzizza Ssabasajja Kabaka olw’okutumbula eby’obulamu mu Uganda – Kabaka@71

April 12, 2026

Kabaka@71 – Nnaabagereka, abalangira n’abambejja betabye ku misinde gy’amazaalibwa ga Kabaka

April 12, 2026

Ssaabasajja Kabaka asimbudde emisinde gy’amazaalibwa ge age 71 – asiimye naye naatambula n’abamu ku bantu baasanze nga tebasobola kudduka

April 12, 2026
Ssaabawaabi w’emisango gya government agguddewo emisango emiggya eri abakozi ba ministry y’ebyensimbi 9 – abagambibwa okubeera abalyake n’okwenyigira mu kukusa ensimbi obuwumbi 60 okuyita ku mitimbagano

Abasomesa 7 basindikiddwa mu nkomyo omwaka mulamba – basingisiddwa gwakwenyigira mu kubba ebibuuzo bya UNEB

April 10, 2026
Abasomesa 7 basindikiddwa mu nkomyo omwaka mulamba – basingisiddwa gwakwenyigira mu kubba ebibuuzo bya UNEB

Abavubuka baleese ebirabo by’amazaalibwa ga Kabaka age 71 – bakubiriziddwa okukuuma empisa buli webabeera

April 12, 2026
Ssaabasajja Kabaka asiimye okusimbula emisinde gy’Amazaalibwa ge ku sunday nga 12 April,2026

Maapu y’ebitundu awanayita abaddusi b’emisinde gya Kabaka Birthday run 2026 yiino

April 10, 2026
Ssaabasajja Kabaka asiimye okusimbula emisinde gy’Amazaalibwa ge ku sunday nga 12 April,2026

Ssaabasajja Kabaka asiimye okusimbula emisinde gy’Amazaalibwa ge ku sunday nga 12 April,2026

April 10, 2026

Ba ssentebe ba district 146 abaawangula akalulu ka 2026 bassiddwa mu kyapa ky’eggwanga ekikulu – The Uganda Gazette

April 10, 2026
Omuliro gusanyizaawo ekisulo ky’abayizi ku Nnakanyonyi Girls SS e Jinja

Omuliro gusanyizaawo ekisulo ky’abayizi ku Nnakanyonyi Girls SS e Jinja

April 10, 2026
Olutalo lw’ebigambo mu bagala ekifo kya sipiika wa parliament – President Museveni alambise ku nteekateeka ya CEC ey’okusemba beyagala balondebwe

Olutalo lw’ebigambo mu bagala ekifo kya sipiika wa parliament – President Museveni alambise ku nteekateeka ya CEC ey’okusemba beyagala balondebwe

April 9, 2026
Government etongozza enkola ey’okuddamu okugabira abantu obutimba bw’ensiri ku bwereere – ey’omwaka 2026

Government etongozza enkola ey’okuddamu okugabira abantu obutimba bw’ensiri ku bwereere – ey’omwaka 2026

April 9, 2026
Ebitongole n’abantu kinnoomu bajjumbidde okugula emijoozi gy’amazaalibwa ga Kabaka ga Sunday nga 12 April ,2026 – abayizi b’amasomero bafalaasiddwa okwekuuma siriimu batuukirize ebirooto byabwe

Ebitongole n’abantu kinnoomu bajjumbidde okugula emijoozi gy’amazaalibwa ga Kabaka ga Sunday nga 12 April ,2026 – abayizi b’amasomero bafalaasiddwa okwekuuma siriimu batuukirize ebirooto byabwe

April 8, 2026
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home BUGANDA

Eno ye Ntanda – Akabimbi akatono Kakira ekyosi

by Namubiru Juliet
October 12, 2023
in BUGANDA, Uncategorized
0 0
0
Eno ye Ntanda – Akabimbi akatono Kakira ekyosi
0
SHARES
831
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

 

Mu program Entanda ya Buganda eyindira ku 88.8 CBS FM Ey’obujjajja, eyabaddewo nga 11 October,2023 yetabiddwamu abamegganyi okuli Ssozi Nasur eyafunye obugoba 23 ne Kalyango Farouk yafunye obugoba 21 era nebasuumusubwa okugenda mu lumeggana oluddako, ate Kisawuzi Tom yafunye obugoba 19 yawanduse.

Bino by’ebibuuzo nga bwebyabadde;

1. Olugero lwenkumaliddeyo, ggwe lutandike mu butuufu bwalwo
…….Yeekamwana yekka – Atalina amukaamwana.

2. Abaganda n’ensimbi baazaawulamu engezi n’ensiru, tuwe enjawulo mu zo –  Ensimbi engezi ebaamu ekituli ate ensiru tebaamu kituli.

3. Ffe abaamulaba ng’abba ssente, tereeza ssentensi eyo mu Luganda olutuufu –  Ffe twamulaba ng’abba ssente

4. Omuganda asobola okufuna omuliro nga yeeyambisa obutonde bwensi, tuweeyo engeri bbiri – Akozesa Amayinja n’ejjirikiti.

5. Ebyana by’enjuki Omuganda alina bwabiyita, abiyita atya? – Ebinyago.

6. Abaganda bawanuuza ki ku Birevu ebimera ku bakyala – Mbu baba bamukisa.

7. Okuva edda ng’Omuganda muyiiya nnyo, mpaayo ebintu bibiri Omuganda mweyakolanga omunnyo –  Eggugu n’ebiwata by’amatooke.

8. Mpaayo ekisoko ekitegeeza nti embaga yanyumye nnyo – Embaga yanyumye ataabadde na mwana yaweese ejjinja.

9. Engoma Buganda Bumu, Kabaka Mutebi yagireegesa mwaka ki? – 2012

10. Bwetugamba omuntu nti kulika ow’e Malwongwe tuba tumukulisa ki?  – Tuba tumukulisa buwuulu.

11. Waliwo omuntu nga ye tafa, okufa kwe nga tukuyita okwewungula, ani? –  Ssaalongo oba Nnaalongo.

12. Erinnya ly’omufuzi ow’ennono eyawangangusibwa ne Kabaka Mwanga –  Omukama Kaabaleega.

13. Olugero, Abalirira ekigula enkumbi – Tawa munne ssooli ddene.

14. Ebiwuka bya bika bisatu ebibeera mu ttaka ng’Omuganda abirya – Enswa, amayenje ne nnamunswa.

15. Ennaku zino obusambattuko bungi mu maka, tuweeyo ensonga bbiri ezireeseewo embeera eno. – Okunywa omwenge n’obwavu.

16. Kuva dda ng’Abaganda bamanyi ssaayansi ow’obwengula ne batuuma n’emmunyeenye amannya, ekiganda ky’emmunyeenye omukaaga baziyita batya?  – Nnakakaaga.

17. Mpaayo embeera emu ebinyirikisi lwebiyitibwa ebisuumwa – Nga bikolokoteddwa okukozesebwa mu kuziraga.

18. Mpaayo embeera bbiri, essimu mwesobolera okutta omuntu ng’ajoogererako –  Ssinga wabaawo amuwa amawulire agatiisa/ agakanga naddala ng’abaddemu n’obulwadde bw’omutima, ssinga ajogererako ng’atambula nemutwala ebirowoozo bayinza okumutomera n’afa.

19. Ey’evviivi okuba nga tekyasaka kitegeeza ki? – Okukoowa ennyo.

20. Abaganda baakiraba dda ng’anamabwa galina bba waago, bba w’amabwa yaani? – Kookolo.

21. Omuntu omukulu akwatiddwa kasikonda ayinza atya okujjanjabwa? – Asobola okunywa ku mazzi.

22. Lwaki Omulangira agenda okutikkirwa e Naggalabi tasomoka mugga Mayanja? – Kubanga n’omugga ogwo Mulangira.

23. Ennaku zino gavumenti erina enkola nnyingi nnyo mweyita okuggya abantu mu bwavu, emu ku zo ye PDM, kirambulule, –  Parish Development Model.

24. Olugero, Baleke baggwe eggayangano – Nga gwayagala yaali ku ngulu.

25. Mpaayo ebintu bibiri eby’ennono byebeeyambisa mu kusona omukeeka –  Obuso n’ebyayi.

26. Omuwala bweyeekoona akagere Abaganda bawanuuza nti abeera afumbiddwa, ani abeera awasizza omuwala oyo? – Lubaale Musoke.

27. Akabimbi akatono kakira ekyosi, Omuganda kiki kyayita ekyosi? – Olunaku omuntu lwatakoze.

28. Olugero, Omwangu y’atta enswa –  ng’asanze zibuuka.

29. Ekintu abaweesi kyebeeyambisa okukuma omuliro mu ssasa bakikola mu ddiba, liba lya nsolo ki? –  Lya ndiga.

30. Omwana omuto bwatandika okuyimirira tugamba nti akola ki? – Aba atengeredde.

31. Buganda Royal Institute yafunye ssenkulu, yaani? – Owek. Joseph Balikuddembe Ssenkusu.

32. Lwaki ba mulekwa babasiba amafuvu? – Okubagumya n’okubaawula abakungubazi basobole okubamanya.

33. Mpaayo omugaso gumu omukulu ku nku ez’okukibanyi mu mpisa z’Abaganda. – Tezifumbisibwa mu kyeya.

34. Ssinga oli akumanyisa nti mujja kugenda awo mu lubungubungu –  ku ssaawa nga 12 ez’okumakya ez’okumaliiri.

35. Ekikolwa eky’okussa empagi ennene mu nju y’Omuganda kiweebwa linnya ki? – Okuwanga enju.

36. Olugero, Awerekera ensanji tajja nayo – kawawa asigala ku mulyango.

37. Omwana atuumibwa erinnya erya Mujumbi yaaba atya oyo? – Azaalibwa kiro ate ng’enkuba etonnya.

38. Eryato ery’okumazzi lyebasibako engoye lisobole okutambula liweebwa linnya ki? – Ettanga.

39. Olugero, Gutta ento –  Negutaddira awo.

40. Obukutubba obuyenja ku mwenge waggulu, Omuganda yabuwa linnya ki? – Obucu.

41. Ekisoko, Okulabya omuntu eza Kyobe kitegeeza ki? – Kumubonyaabonya.

42. Empafu ento, Omuganda agiwa linnya ki? – Eggu.

43. Ensangi zino waliwo akawuka akalya ekikolo kya kasooli naye katandikira mu bikoola, omulimi ayinza kukalwanyisa atya? – Akafuuyira eddagala lya ssaayansi.

44. Mpa amannya g’omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda olukulu –  Owek. Patrick Luwaga Mugumbule.

45. Mpaayo amakulu ga mirundi ebiri ag’ekigambo kulya –  Okulya emmere n’amannyo N’okulya Obwami.

Bitegekeddwa: Kamulegeya Achileo K

 

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Omubaka wa Germany mu Uganda H.E Mathias Schauer yeyanzizza Ssabasajja Kabaka olw’okutumbula eby’obulamu mu Uganda – Kabaka@71
  • Kabaka@71 – Nnaabagereka, abalangira n’abambejja betabye ku misinde gy’amazaalibwa ga Kabaka
  • Ssaabasajja Kabaka asimbudde emisinde gy’amazaalibwa ge age 71 – asiimye naye naatambula n’abamu ku bantu baasanze nga tebasobola kudduka
  • Abasomesa 7 basindikiddwa mu nkomyo omwaka mulamba – basingisiddwa gwakwenyigira mu kubba ebibuuzo bya UNEB
  • Abavubuka baleese ebirabo by’amazaalibwa ga Kabaka age 71 – bakubiriziddwa okukuuma empisa buli webabeera

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist