Kkooti enkulu mu Kampala esuubirwa leero okuwa ensala mu misango gy’ebyokulonda ebiri okuli ogwaloopwa munnakibiina Kya NUP Fred Nyanzi Sentamu mwawakanyiza obuwanguzi bwa Mohammed Nsereko ng’omubaka wa Kampala Central.
Omusango omulala gwegwaloopwa munna DP Kayanja De Paul mwalumiriza munna NRM Fabrice Rulinda okumunyagako obuwanguzi bwe ku kifo kya Meeya we Entebbe.
Kkooti ejulirwamu yalagira emisango gino giddemu okuwulirwa kkooti enkulu,oluvannyuma lwokukizuula nti gyagobwa awatali nsonga ya Ssimba.
Mumusango gwa Nyanzi Ono awakanya Nsereko okwekobaana n’akakiiko kebyokulonda nebabba obululu saako n’emivuyo egitagambika.
Kyokka ate mumusango gwa De Paul Ono awakanya obuwanguzi bwa Rulinda gw’agamba nti nti naye yekobaana n’akakiiko k’ebyokulonda nebabulankaya ebyava mu kulonda ku bifo 74 ebironderwamu.#