Ttiimu y’eggwanga ey’omuzannyo gwa basketball eyabakazi, The Gazelles, etandise bubi mu mpaka za FIBA Women’s Afro Basket Zone 5 qualifiers, ekubiddwa bamulirwanwa aba Kenya abalina ekikopo kino ku bugoba 61 – 53.
Empaka zino ziyindira Lugogo mu Kampala, era nga omuzannyo ogwasosewo Misiri yakubye South Sudan obugoba 83-68.
Uganda Gazelles ekomawo mu kisaawe okuzannya ne Misiri kusaawa 1 n’ekitundu ezakawungezi, naye nga wagenda kusookawo Rwanda ng’ettunka ne South Sudan ku saawa 11 ez’olweggulo.
Amawanga gonna galwana kukiika mu mpaka ezakamalirizo eza FIBA Women’s Afro Basket Championship, ezinabeera e Rwanda omwaka ogujja 2024.
Mungeri yeemu Uganda Gazelles era erwana okuddamu okukiika mu mpaka zino omulundi ogw’okusatu, nga yasooka mu 1997 e Kenya ne 2015 e Cameroon.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe