89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM

CBS-PEWOSA NGO

Okuva ku kkono;Oivind Ermando Reinertsen avudde mu Norwagian Agency on exchange Cooperation,omuk.Micheal Kawooya Mwebe akulira CBS FM, Marit Erdal ne Florence Luwedde akulira CBS PEWOSA NGO.

Radio Buganda CBS FM  ezizza bujja enkolagana yaayo n’e kitongole kya Norway, ekya Norwegian Agency for Exchange Cooperation mwebayita okuwanyisiganya abavubuka abalina obukugu obwenjawulo, nabaakava mu mussomero, okutumbula embeera zabwe nébitundu gyebawangaalira.

CBS FM endagaano gyeyasooka okukola nékitongole kino yali ya myaka 5 , era mwebayita okuweereza abavubuka 2 mu Norway okufuna obukugu mu bintu ebitali bimu, omuli ebyobuwangwa, Technologiya nengeri yokulakulanyamu ebitundu gyebabeera.

Norway okuyita mu kitongole kya Norwegian Agency for Exchange Cooperation wamu ne Stromme Foundation, nabo bakuleeta abavubuka 2 okuweerereza mu kitongole kya CBS Pewosa NGO.

Babadde mu studio za CBS FM

Abakungu okuva mu kitongole kya Norwegian Agency for Exchange Cooperation okubadde omuwi wamagezi Marit Erdal,  n’omulondoozi w’e nteekateeka Oivind Armando Reinertsen basisinkanyemu senkulu wa CBS omukungu Micheal Kawooya Mwebe mu wofiisi ye ku Masengere okwongera okuttaanya ku  nteekateeka eno.

Omukungu Kawooya Mwebe agambye nti enteekateeka eno ekyusizza nnyo entambuza y’e mirimu mu bitongole bya Ssaabasajja ebitali bimu, era bakwongera okugikwata obulungi bongere okujjamu ebibala.

Akulira okulondoola emirimu mu kitongole kya Norwegian Agency for Exchange Cooperation Oivind Armando Reinertsen atenderezza CBS FM olwolwenyigira mu kukyusa embeera z’a bantu.

Babadde Nanziga nga balambula ekifo ky’abawala webayigira okutunga engoye

Akulira CBS Pewosa NGO, Florence Luwedde agamba nti bakukozesa program eno okutwala ekitongole kya Cbs Pewosa NGO mu maaso, n’okusomesa abavubuka emirimu gy’omikono okwekulakulanya n’ebitundu gyebabeera.

Bakyaddeko e Nanziga ku kifo Abaana abawala webasomesebwa okutunga engoye n’okusiba enviiri.

Abaana bano Bali mu project eyitibwa ‘BONGA’

Mu nkolagana eno, ekitongole kya CBS PEWOSA kyakutumbula enkola yémirimu gyakyo nébitundu mwebakolera, nga bawanyisa obukugu ne  bannabwe abava e Norway.

 

Welcome Back!

Login to your account below

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Add New Playlist