• Latest
  • Trending
  • All

International water day, omululu gunokoddwayo mu kusaanyawo obutonde bwensi n’amazzi amayonjo

March 22, 2022
Eyali omujaasi wa UPDF asingisiddwa ogw’okutta Joan Kagezi – asaliddwa emyaka 35

Eyali omujaasi wa UPDF asingisiddwa ogw’okutta Joan Kagezi – asaliddwa emyaka 35

May 19, 2025
Eyali omujaasi wa UPDF asingisiddwa ogw’okutta Joan Kagezi – asaliddwa emyaka 35

Police etaddewo pikipiki ezigenda okuwerekera abalamazi abagenda e Namugongo

May 19, 2025
Eyali omujaasi wa UPDF asingisiddwa ogw’okutta Joan Kagezi – asaliddwa emyaka 35

Ab’oludda oluvuganya balambise ensonga zebagenda okugoberera okulemesa okuyisa etteeka ly’amagye

May 19, 2025
PFF etabukidde ab’oludda oluvuganya government

PFF etabukidde ab’oludda oluvuganya government

May 19, 2025
Abakungu ba FUFA 3 balondeddwa ku mirimu gy’ekibiina kya CAF

Abakungu ba FUFA 3 balondeddwa ku mirimu gy’ekibiina kya CAF

May 19, 2025
Ebbeeyi ya shilling nga bweyimiridde mu katale k’ensimbi

Ebbeeyi ya shilling nga bweyimiridde mu katale k’ensimbi

May 19, 2025
Uganda Airlines mu butongole etandise eηηendo zaayo okuva ku kisaawe Entebbe okwolekwra London ekya Bungereza

Uganda Airlines mu butongole etandise eηηendo zaayo okuva ku kisaawe Entebbe okwolekwra London ekya Bungereza

May 19, 2025
Engabi Ensamba eyongedde okulaga amaanyi mu mipiira gy’Ebika by’Abaganda 2025

Engabi Ensamba eyongedde okulaga amaanyi mu mipiira gy’Ebika by’Abaganda 2025

May 18, 2025
Okwefumiitiriza ku bulwadde bwa puleesa – Obwakabaka busazeewo okusomesa abantu okubwewala

Okwefumiitiriza ku bulwadde bwa puleesa – Obwakabaka busazeewo okusomesa abantu okubwewala

May 17, 2025
Ttabamiruka w’abakyala mu Buganda akomekkerezeddwa – Nnaabagereka abakubirizza okwettanira Technology omuggya

Ttabamiruka w’abakyala mu Buganda akomekkerezeddwa – Nnaabagereka abakubirizza okwettanira Technology omuggya

May 16, 2025
People’s Front for Freedom (PFF) ekubiddwa mu kyapa ky’eggwanga

People’s Front for Freedom (PFF) ekubiddwa mu kyapa ky’eggwanga

May 16, 2025

Kooti ensukkulumu egobye omusango gw’okujulira ku by’okutunda National Bank of Commerce

May 16, 2025
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home Features

International water day, omululu gunokoddwayo mu kusaanyawo obutonde bwensi n’amazzi amayonjo

by Namubiru Juliet
March 22, 2022
in Features, News, World News
0 0
0
0
SHARES
152
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter
Omwana ng’asena amazzi mu luzzi olw’ensulo

Ensi yonna olwaleero ekuzizza olunaku lw’amazzi amayonjo, essira liteekeddwa ku ky’okukubiriza abantu buli omu waali okutaasa obutonde bwensi omuva amazzi amayonjo, babutwale ng’eky’omuwendo, bagakuume ku lw’obulamu obulungi.

Muno mulimu obutayikuula bisenyi, ebibira, emigga nga basimayo amayinja n’omusenyi, n’okugogola enzizi, obutasuulamu kazambi, obuveera n’ebintu bya pulasitika ebirala.

Olunaku luno olw’amazzi amayonjo lwateekebwawo ekibiina ky’amawanga amagatte ki United Nations mu mwaka gwa 1992 mu kibuga Rio de Janeiro ekya Brazil.

Mu butongole lwatandika okukuzibwa nga  22 march, 1993.

Olw’omwaka guno 2022 lukuziddwa ku mulamwa gw’okwefuumitiriza ku nsulo z’amazzi eziri eyo wansi mu ttaka, nga zino zeziiriikiriza enzizi,ennyanja, emigga, entobazi, n’ebirala.

Amazzi nga gano agamayonjo aga tap, gakyali matono mu Uganda

Omulamwa guno gugendereddwamu okukuuma obutonde bwensi, okutaasa ensulo ezo obutakalira, nga singa zikalira omwana w’omuntu wakubeera mu katyabaga kennyini.

Uganda yeemu ku nsi ezegasse mu nteekateeka y’okukuza olunaku luno olw’amazzi.

Avunaanyizibwa ku mutindo gw’ebyamazzi mu  ministry of water and environment Eng Joseph Eyatu agambye nti amazzi amayonjo gakola omulimu gw’amaanyi mu kusitula omutindo gw’obulamu bw’abantu, okulwanyisa endwadde, enkulakulana y’ebitundu, okusitula ebyenfuna n’ebirala.

Abaana basanga ekizibu ky’okufuna amazzi amayonjo ag’okunywa, wabula bwebafuna omukisa ogugafuna bassaawo ngalo nga banywera

Abatuuze abawangalira ku byalo bibiri okuli ekye Namukuma ne Kasota mugombolola lye Busaana mu district ye Kayunga,  bebamu ku bukadde n’obukadde bwa bannauganda abakosebwa ebbula ly’amazzi amayonjo.

Bagamba nti amazzi gebakozesa ge gamu aganywebwamu ebisolo, ekibaviirako okulwala endwadde eziva mu kunywa amazzi amakyafu.

Ssentebe w’e kyalo Namukuma nga ye Ziraba Idd, agambye nti kyebasinga okwetaaga mu kiseera kino, kwekubazimbira nnayikondo eziwera, wamu n’okubasimira enzizi.

Embeera y’ebyalo bino yeemu esangiddwa ne mu bitundu ebiwerako mu ggwanga, ng’abakyala n’abaana batambula e𝝶endo mpanvu ddala okufuna amazzi g’okukozesa awaka.

Omwana ng’akozesa essefuliya okusema amazzi g’okukozesa ewaka

Oluusi amaka agamu tegafuna mazzi gamala, ng’anamatono gebafuna tegaba mayonjo.

Omumyuuka w’Omukulembeze w’eggwanga Rt Major Jesicca Alupo, yalabula nti  awatali bannansi kwekuba mu kifuba nebava ku bikolwa eby’okutyoboola Obutondebwensi, Uganda yandikomekkereza nga effuuse ddungu.

Yasabye buli muntu okukola ekisoboka okuzzaawo byonna ebyonoonebwa bannakigwanyizi, omuli okubaloopa mu mbuga z’amateeka, okubakomako n’ebirala.

Jesca Alupo agamba, nti kubanga okwonoona obutonde n’ebbula ly’amazzi terijja kukoma kukosa bantu ba bulijjo abatina nsimbi, nti wabula n’abalowooza nti balina ensimbi.

Buno bwe bumu ku bubaka bwe bweyawa mu kutongoza ssabbiiti y’amazzi n’Obutonde bwensi ku mikolo egyayindidde ku ministry y’amazzi e Luzira.

 

Beatrice Anywa nga ye minister omubeezi ow’amazzi n’Obutondebwensi , asabye abakulembeze ku buli mutendera okukulemberamu kawefube, ow’okukuuma obutonde bwensi, neyeyanza  Ssabasajja Kabaka okubeera emmunyeenye mu kulwanirira Obutondebwensi.

Beatrice Anywa agamba nti abasirikale abalwanirira Obutonde bwensi bakyali batono, so nga bandiyambyemu okukwasisa amateeka ag’okukuuma obutonde bwensi okutaasa ensulo z’amazzi okukala.

Abasirikale bano bali 180 bokka, kyokka mu butono bwabwe bwebagezaako okukola ekisaanye okukolebwa nti nga bafuna ebiragiro okuva mu baayise ba “Above”.

 

Oluzzi lw’emidudu oluliikirizibwa amazzi g’ensulo, nga luli mu kifo ekikyafu

Paul Mugambe nga ye meeya w’egombolola ye Nakawa agamba nti awatali gavumenti kusala ku musolo gwesolooza ku mazzi, abantu bakwongera okulwala, olw’amazzi amakyaafu agali mu Kampala.

Ebitundu by’omugotteko bye bisinga okubeera mu katyabaga k’obutaba na mazzi mayonjo,nga nabamu bakozesa gamyala, so nga n’abalina enzizi ez’ensulo, ziri mu bifo bikyafu ebikulukutiramu kazambi.

Amazzi g’emyala nga gano gaggweera mu nzizi ezivaamu amazzi agakozesebwa mu maka

Ku lwa bannaddiini abaakulembeddemu enzikiriza zonna, Father Constantino Mbonabingi okuva mu Uganda Joint Christian Council ,agamba nti omululu gw’ensimbi n’Obutamanya, byebisinze okuviirako Obutondebwensi okusaanawo, ekiviiriddeko bamusigansimbi okuttattana ebibira n’entobazzi mu Uganda eno.

Omubaka wa parliament owa Nakawa East Nsubuga Ronald Balimwezo agamba nti abakulu mu gavumenti basukka okwewoomya nga boogera ku butondebwensi, kyokka nga mu kubuttattana bakwata kisooka bagambye nti baswaazizza nnyo Uganda nebadda ne mu Kati.

 

 

 

 

 

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Eyali omujaasi wa UPDF asingisiddwa ogw’okutta Joan Kagezi – asaliddwa emyaka 35
  • Police etaddewo pikipiki ezigenda okuwerekera abalamazi abagenda e Namugongo
  • Ab’oludda oluvuganya balambise ensonga zebagenda okugoberera okulemesa okuyisa etteeka ly’amagye
  • PFF etabukidde ab’oludda oluvuganya government
  • Abakungu ba FUFA 3 balondeddwa ku mirimu gy’ekibiina kya CAF

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

- Select Visibility -