Omujulizi Omutuukirivu Annattooli Kiriggwajjo.
Yattibwa nga 3 June 1886.
Yayokebwa bwokebwa omuliro n’asirikka!
Ye muwolereza w’abayizzi n’abalaalo (Abalunzi)
Anattooli Kiriggwajjo yali Munyoro.
Yali ava mu kika ky’Abasiita (Ab’Engabi)
Yanyagwa bunyagwa Buganda bweyali erwana ne Bunyoro.
Yali asibuka mu kitundu ekimanyiddwa nga Kyaka kati kiri mu Toro.
Abaamunyaga baamutwalira Kisomose eyaali omugabe waabwe ng’alina emyaka 16 gyokka egy’obukulu.
Kisomose yamutwala mu lubiri n’amukwasa Omumbowa omukulu Yozefu Mukasa era n’amuwa obuvunaanyizibwa bwakuweereza mu Twekobe ennyumba enkulu eya Kabaka mu lubiri e Mengo.
Kiriggwajjo yali muyizzi lukulwe ate ng’ayagala nnyo okulunda nti era buli lweyafunanga omukisa ogubikola, ng’aggyayo obukodyo bwonna.
Yali muwulize nnyo era omuteefu ow’ensusso eri Kabaka Mwanga, era ekyo kyamufuula omuganzi eri Kabaka!
Olw’embeera eno, Kabaka yamukuza (Okumulinnyisa amadaala) n’amuwa omulimu gw’okulabirira ebisenge by’ababazaana ba Kabaka omulimu gweyakola obuteebalira.
Abambowa Andereya Kaggwa Munyoro munne ne Yozefu Mukasa baatandika mpola omumwogereza asenge Yezu era naye n’akkiriza.
Annattooli omulimu gw’okulabirira ebisenge by’abazaana ba Kabaka yagulaba nga ogumusoomooza wamu n’okukkiriza okwali okuggya mu bulamu bwe n’asalawo agusuulewo.
Kino kyanyiiza nnyo Kabaka Mwanga wabula yamussa akasiiso, okutuusa ekiruyi bwekyamutuuka mu bulago n’alagira okuttibwa kw’abasomi ne Annattooli nekimuzingiramu, era naye nattibwa ng’ayokebwa e Namugongo!.
Bikungaanyiziddwa: Kamulegeya Achileo K