Ekitongole ekivunanyizibwa ku bisolo byomuttale ekya Uganda Wildlife Authority UWA, kyongezza ebisale ebisoloozebwa okulambula ebisolo ebiri mu makuumiro gonna okwetoloola eggwanga.
Ebisale by’okulambula byongeddwa ku Bisodde n’Amazike.
Ekitongole kino kyongezza ensimbi z’okulambula Ebisodde okuva ku dollar za America 500 okudda ku okudda ku Dollar 700, eri abalambuzi abava mu mawanga agali ebweru wa Africa, aba Africa bakusasula dollar 500, sso nga Bannauganda bakusasula shs 300,000/= okuva shs 250,000/=
Okusinziira ku kiwandiiko ekiteereddwako omukono gwa ssenkulu wa UWA Sam Mwandha ebisale bino ebipya byakutandika okukola okuva nga 01 July,2024 okutuuka nga 30 June,2026.#