Libadde ssanyu gyerere nga egye lya Somalia erya Somalia National Army likwasibwa ekitundu kye Balire, ekibadde kikuumibwa eggye lya Uganda erya UPDF.
UPDF yebadde ekuuma ekitundu ekyo okuva bweyakinunula mu mikono gy’abatujju ba Alshabab mu 2023.
Guno mulundi gwa kusatu ng’eggye lya UPDF erikuuma emirembe mu Somalia mu nteekateeka yo mukaago gwa African UNION eya ATMIS, likwasa egye lya Somalia ekifo kino.
Emirundi ebbiri egyasooka kyabakwasibwa mu 2017, ate oluvanyuma nekiddamu nekibawambibwako abatujju ba Alshabab.
Embeera ebadde ya bukenke nga ennyonyi za magye zetoloola ekitundu kye Balire, UPDF bwebadde eggyayo ebyokulwanisa byaayo okubitwala ku kitebe UPDF e Somalia ekisangibwa mu kibuga Mogadishu.
Akulira eggye lya UPDF e Somalia, Brig. Anthony Lukwago asinzidde ku mukolo guno naategeeza nti kuluno balina esuubi nti eggye lye Somalia lifunye obukugu obumala okutangira abatujju ba Alshabab okuddamu okuwamba ekitundu kino ekye Balire, ekisangibwa ku kilomwter 60 okuva mu kibuga Mogadishu.
Brig. Lukwago agambye nti enkambi ye Balire eggatiddwa ku bifo ebirala UPDF byezze ekwaasa egye lya Somalia, okuli ekisaawe kye nnyonyi e Mogadishu, amaka go bwa President, omwalo gwe Seaport n’ebirala mu nteekateeka yokukendeeza ku muwendo gwa basirikale ba Uganda abali e Somalia.
Endagaano eyakolebwa government ya Uganda nomukaago gwa African Union eraga nti Uganda erina okuggya amagye gaayo e Somalia ku nkomerero yo mwaka guno 2024.
Kino kyekimu ku kyawaliriza President Museveni wamu n’olukiiko lwa magye olwo kuntikko okulagira nti omuwendo gwa basirikale abali e Somalia kukendezebweko mpola mpola, ng’abasirikale ba Somalia bwebayongera okutendekebwa mu by’okulwanyisa obutujju.
Amyuka akulira ebikwekweto mu gye lya Somalia National Army, Maj. Ahmed Muhudin bwabadde ayogera ku mukolo ogwetabiddwako omwogezi wa magye ga UPDF, Brig. Felix Kulayigye nakulira ebyokwerinda ku kitebe kya Uganda e Somalia, Brig Gen Chema agambye nti balina essanyu okubeera nga kati bafunye obukugu obumala okulemesa abatujju ba Alshabab okuddamu okuwamba ekitundu kino ekya Balire.
Bisakiddwa: Nsubuga Alex