Ekitongole ekivunanyizibwa ku bibuuzo mu ggwanga ekya Uganda National Examinations Board, (UNEB), kikubisizzaamu emirundi ebiri mu bisale abayizi byebalina okusasula okwewandiisa okukola ebyakamalirizo omwaka guno 2024.
UNEB egamba nti abayizi ababadde basasula emitwalo 34,000 ku mutendera gwa PLE, kati bakusasula emitwalo 68,000.
Aba S.4 ababadde basasula emitwalo 164,000 ku S.4 bakusasula emitwalo 328,000.
Aba S.6 ababadde basasula emitwalo 184000 bakusasula emitwalo 368,000 mu kwewandiisa okukola ebibuuzo.
Nsalesale w’okuwandiisa abayizi abanaatuula UNEB eyasooka yaggwako nga 31 May, ne nga 30 June,2024, so ng’abaasigalira nabo baweereddwa obutasukka olwa nga 31 July,2024.
Ayogerera UNEB, Jennifer Kalule Musamba, agamba nti werutuukidde leero ng’abayizi akakadde kamu n’emitwalo 1,31 7,756, bebaakewandiisa okukola ebibuuzo by’omwaka guno 2024 ku mitendera gyonna.
UNEB omwaka guno yakutegeka ebibuuzo byamirundi 4, nga aba senior eyokuna bakukola ebibuuzo bya mirundi 2 okuli ebyabali mu Curriculum empya naabali mu nkadde.
Kalule Musamba agamba nti bwogerageranya omuwendo gw’abayizi abawandiisiddwa omwaka guno 2024, n’ogwa 2023, beeyongeddemu ebitundu 7%, omwaka oguwedde baali 1,224,371.
Abayizi abeewandiisizza okutuula ebyakamalirizo, kuliko abayizi 798,188 ku mutendera gwa PLE, abayizi 377,932 bamutendera gwa S.4 ate abayizi emitwalo 141,640 bakumutendera gwa S.6.
Kalule agambye nti ebibuuzo by’omwaka guno abayizi abawala bakola ebitundu 56% ate abalenzi bakola ebitundu 44% sso nga n’ebifo ebigenda okutuulibwamu abayizi byeyongeddeko centers 9,804.
Bisakiddwa: Ddungu Davis