BannaKenya bawezezza wiik nnamba nga bekalakaasa, nga bawakanya egimu ku misolo emiggya gyebagamba nti gibanyigiriza.
Okwekalakaasa okwatandikidde mu mirembe kwabasobyeko nekwetabikamu effujjo n’okusaasaanira amasaza agawerako mu Kenya, okukakkana nga kwetobeseemu okwonoona ebintu, n’okwokya ebizimbe.
Baalumbye ekizimbe kya parliament ya Kenya ababaka gyebaabadde bateeseza ku tteeka ly’omusolo nebasaako kakokola tondeka nnyumba, saako okwokya ekitundu ky’ekizimbe kya parliament, wabula ekitongole kyabazinnyamwoto ekya Nairobi Fire Department kyabadde bulindaala, omuliro neguzikizibwa mu bwangu.
Mu ngeri yeemu abekalakaasa baalumbye ekizimbe kya Uganda House ekisaangibwa ku Kenyatta Avenue nebakiteekera omuliro, wabula nakyo kyataasiddwa mu bwangu ng’omuliro tegunasaasaana.
Okusinziira ku kiwandiiko ekifulumiziddwa ministry ya Uganda ey’ensonga y’ebweru w’eggwanga nga kiteereddwako omukono gw’omuteesiteesi omukulu Bagire Vincent Waiswa, kiraze nti ekizimbe kino eky’emyaliriro 6 kibadde kyakaddaabirizibwa.
Wabadde wabulayo ennaku bbiri zokka kiggulwewo nga 28 June,20224.