Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga aggaddewo Ttabamiruka wa Buganda Bumu North American Convention ow’omulundi ogwe 10 mu Kibuga Boston ekya America.
Katikkiro yebazizza abantu ba Kabaka olw’Obujjumbize eri ensonga z’Obwakabaka ,naabasaba Obutakoowa. n’okugoberera obubaka bwa Ssaabasajja Kabaka n’okubussa mu nkola.

Katikkiro alabudde abantu ba Kabaka ku kwekubagiza okusukkiridde n’Okuwoza nti waliwo abatabaagala, abasabye babiteeke ku bbali basooke baagalane bokka, nga banyweeza ennyingo y’Obumu.
Katikkiro mumbeera yeemu ajjukizza abantu ba Kabaka okwewala endwadde naddala ezitabula emitwe, okulowooza ennyo ku Bulamu bwabwe ,Okulowooza ku kusiga ensimbi ku butaka n’Okwagazisa Abaana Obuwangwa n’Ennono.

Minister wa government ez’ebitundu n’okulambula kwa Kabaka era nga yavunaanyizibwa ku Bantu ba Kabaka ebweru Owek Joseph Kawuki, yebazizza abantu ba Kabaka olwobuwulize bweboolesezza ,omuli okunnyikiza ensonga za Buganda ssemasonga etaano, nga bayita mu nkuηaana nga zino.

Mu ngeri yeemu Katikkiro atuuzizza omwami wa Kabaka ow’essaza lya New England, Owek. Henry Matovu Ndawula, ng’ono yeyadda mu bigere by’Owek.Kato Kajubi.
Essaza lino liziingiramu ebitundu okuli Massachusetts, Rhoses Islands, New Hampshire,Connecticut ne Vermont.
Bisakiddwa: Kato Denis