Ssemanobe aliko ye Paul Kizito owa 26 ng’ono yalondebwa mu mwaka gwa 2019.
Paul Kizito yadda mu bigere bya Ssemanobe John Baptist Sserwanja, eyakulemberamu okutuuza Ssaabajja Kabaka Ronald Mutebi II e Naggalabi, Buddo.
Ssemanobe yakulemberamu emikolo gy’okutuuza Kabaka ku Nnamulondo.
Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II mwali alamula,Kabaka wa Buganda owa 36.
Yatikkirwa e Naggalabi Buddo nga 31 July,1993.#