Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda II aweerezza obubaka obukubagiza ab’ennyumba y’Omutaka omukulu we Kika kya Mamba ,Gabunga owa 37 Mubiru Ziikwa Ow’okuna nabazukkulu olwo mutaka ono eyabula .
Obubaka bwa Ssabasajja busomeddwa Minister wa Cabinet , abagenyi n’ensonga ez’enkizo mu wofiisi ya Katikkiro Owek. Noah Kiyamba ku mikolo egyokutereka Omutaka Omubuz,e n’okulaga omubbulukuse egibadde ku butaka bw’Ekika kye Mamba e Ssagala Buwaya mu Ssaza Busiro.
Omutanda agambye nti omugenzi abadde muwulize nnyo eri Namulondo n’Obwakabaka bwonna.
Omutaka omubuze Gabunga owa 37 Mubiru Zziikwa aterekeddwa mu Nnyumba Busirike nga muni mulimu ba Ssegabunga 8 , era aterekeddwa mu mbugo ezisobye mu 200 n’ekinnya kya Fuuti 15 okudda wansi n’obugazi fuuti 5 ku 8.
Minister w’obuwangwa eNnono, Embiri n’ebyokwerinda Owek Dr Anthony Wamala, obubaka bwe abuttise Owek. Kiyimba, asabye abaddukanya Ebika okukuuma ettaka okutudde ebifo by’ennono.
Omukubirizi w’olukiiko Lwa Bataka Namwama Augustine Kizito Mutumba ng’akikiriddwa Omutaka Kidimbo Dr Grace Kizito Bakyayita asabye Gabunga omuggya okulwanirira Namulondo nenkulakulana y’e Kika.
Katikkiro wa Gabunga Kyobe Kyomubbazi Kabelenge Gerald ategezeezza nti okuzuula Gabunga Omubbulukuse kugoberedde Ennono.
Emikolo gy’okutuuza Gabunga owa 38 Mubiru Zziikwa James V gitambulidde ku bulombolombo omubadde okutUuziibwa ku Jinja Siryamawolu mu mbuga ya Mulondo, okusumikirwa abantu abenjawulo, okwambazibwa ebikomo ebimuwa amaanyi okulamula ekika , era ono atuuziddwa Omutaka Mulondo atuuza abalidde obwa Gabunga.
Gabunga Mubiru Ziikwa James oluvanyuma lw’okutuzibwa ayogeddeko eri abazukkulu.
Emikolo gino gyetabiddwako Abataka abakulu ab’obusolya ,abakungu okuva mu bwakabaka , gavumenti , bana Ddiini nga bakulembeddwamu Bishop Ssalongo James Bukomeko , nabalala.
Bisakiddwa: Ssebuliba Julius