Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye n’alambulako ku ssaza lye Kooki mu town ye Kyotera.
Nnyinimu asiimye naava mu mmotoka naatambuza ebigere mu town ye Kyotera, okutuukira ddala mu kitundu ekimanyiddwa nga Betereemu.
Abantu abamulabyeko bamwekanze bwekanzi, olw’essanyu eriyitiridde bangi balabiddwako nga badduka emisinde nga bamugoberera wakati mu kaluulu ak’oluleekereeke.
Bisakiddwa: Ssozi Ssekimpi Lwazi