Ssaabasajja Kabaka Empologoma ya Buganda Ronald Muwenda Mutebi II asiimye emirimu egikolebwa abaami be ku mitendera egy’enjawulo mu Canada ne mu America, n’ebitundu byÉnsi ebirala.
Mu bubaka Maasomooji bw’atisse Katikkiro era nga busomeddwa mu kuggulawo olukungaana lwa Buganda Bumu North American Convention mu kibuga Boston, Omuteregga asiimye abantu be olwókubeera obumu.
Kalemakansinjo asabye abantube okweggyamu okweraliikirira nókwennyika olwókuba bali ku mawanga, nábakubiriza okukuliza Abaana mu mpisa, nÓkulwaanyisa Mukenenya gyebali.
Mu ngeri eyenjawulo Nnyininsi abalagidde okusoosowaza Obuwangwa nÉnnono bya Buganda naddala mu Bavubuka.
Ku lulwe Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abantu ba Kabaka abali ku Mawanga okukola obutaweera ate bategekere obukadde bwabwe, nga basiga ensimbi ku butaka e Uganda gyebasibuka.
Minister wa government ezÉbitundu era avunaanyizibwa ku bantu ba Kabaka ababeera ebweru wa Buganda Owek Joseph Kawuki, yebazizza Abantu ba Kabaka olwÓkunywerera ku Nsonga ssemasonga ez’obwakabaka bwa Buganda, omuli okunyweza Nnamulondo,okukola ennyo,obumu
Rebecca Nansasi ngaye ssentebe wa Ggwangamugye Boston, yebazizza Katikkiro ne ba minister ba Kabaka, Abaami bÁmasaza, Abamagombolola, emiruka nÁbatongole olwokuwuliriza Maasomoogi, nebateeka mu nkola ebiragiro bye.
Herbert Ddungu Ssuuna nga ye Ssentebe wÉntekateeka zÓlukungaana lwa BBNAC 2025, agambye nti Olukungaana lwÓmulundi guno lugguliddewo banna Uganda abali emitala wÁmayanja emikisa egyenjawulo.
Wasswa Emmanuel nga ye president wa Buganda Bumu North American convention, yebazizza abakulembeze ku mitendera egyenjawulo mu America, abayambye ennyo mu kunoonya ensimbi okutambuza emirimu.#