Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye n’akomawo munsi ye okuva e Germany, gy’amaze akabanga ng’abasawo abakugu boongera okwekebeggya obulamu bwe.
Nnyininsi Sseggwanga Musota ku kisaawe ky’ennyonyi e Ntebe ayaniriziddwa omumyuka asooka owa Katikkiro Owek. Prof Twaha Kawaase Kigongo.
Owek.Kawaase agambye nti Omutanda yagenda e Germany nga 05 June,2025, era ng’akomyewo mirembe.
Wabula Owek Kawaase agambye nti Obwakabaka bwakwongera okussa ekitiibwa mu biragiro by’abasawo b’Omutanda.#