Bannansi ba South Sudan mu kibuga Juba bongedde ebirungo mu nteekateeka z’okwaniriza Ppaapa Francis agenda okubakyalirako ku bugenyi bw’obutume enkya.
Abantu balabiddwako nga booza enguudo n’okuzikuutira ddala, Omutukuvu Ppaapa Francis atuuke mu kibuga nga kitemagana nga mukene!
Ppaapa Francis yasoose mu Democratic Republic of Congo ku bugenyi bw’amazeeko ennaku bbiri, era gyeyayimbidde Emmisa eyetabyemu abantu abaasobye mu kakadde, n’okusisinkana ebibinja by’abakulembeze n’abantu ab’enjawulo.
Ppaapa mu Congo essira alitadde ku kuzza emirembe mu ggwanga eryo ng’asaba abalwanagana okweddako basse wansi eby’okulwanyisa ensi yaabwe ebukalemu emirembe.
Okusinziira ku Vatikaano, Omutukuvu Ppaapa yagenyiwadde mu Africa mu mawanga gano okunnyikiza enjiru y’emirembe n’okussa ekimu.#