Government ya Uganda ne ya South Korea zitadde omukono ku ndagaano, South Korea mwegenda okuwolera Uganda ensimbi obukadde bwa ddoola za America 500, mu shilling ze trillion 1 n’obuwumbi 902 okuzimba enguudo n’emirimu emirala egigasiza awamu bannansi.
Endagaano eno etereddwako omukono mu kibuga Seoul ekya South Korea, ng’olukungaana lwa South Korea -African Summit lugenda mu maaso.
President wa South Korea yakyazizza abakulembeze b’amawanga ga Africa olusookedde ddala.
Minister w’ebyensimbi owa Uganda Matia Kasaija yaatadde omukono ku ndagaano eno kulwa government ya Uganda, songa minister wa South Korea owensonga zamawanga amalala Cho-Tae -Yull yataddeko omukono kulwa government ya South Korea
Ensimbi zino trillion 1 n’obuwumbi 902, zigenda kuyisibwa mu bank ya Korea Exim Bank nga zakuvaayo mu biwagu okuva mu mwaka guno 2024 okutuuka mu mwaka 2028.
Ekitongole kya Korea ki Economic Development Cooperation kyekigenda okuvugirira ebbanja lino.#