President wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni atadde omukono ku tteeka lya erirambika engabanya y’ensimbi mu mbalirira y’eggwanga (Appropriation bill) ey’omwaka gw’ensimbi guno 2024/2025 eyakatandika okukola, eweza trillion 72 n’obuwumbi 136.
Ebbago lino, parliament bweyaliyisa mu mwezi gwa May,2024, president yaligoba olwa parliament okubaako ensimbi zeyakyuusa neziteeka ku bintu ebirala byeyalaba nti byankizo.
Parliament yazeemu netuula neddamu okwetegereza ebbago lino, nerikyusibwa era ebintu president byeyalambika nebissibwako ensimbi.
Oluvannyuma lwa president okuteeka omukono ku tteeka lino, embalirira y’eggwanga ey’omwaka gw’ebyensimbi 2024/2025 egenda kussibwa mu nkola era etandike okusaasanyizibwa mu butongole.#