President Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa yeweza okufaafagana n’abakozi ba government abagufudde omugano okulya enguzi n’okwezibika ebintu bya government, nti bonna bakubizza n’okubasiba abasibe.
Agambye nti abakozi n’abakungu ba government bakoze kinene okuzingamya enkulakulana y’eggwanga.
Awadde eky’okulabirako nti abalyi b’enguzi balimba limba bamusiga nsimbi nebabanyagako ensimbi, abalala nebabalemesa emirimu nga babatiisatiisa.
Okwogera bino President Museveni asinzide mu District ye Namutumba mu Busoga ku Bikujjuko by’okujaguza olunaku lw’abakozi olukwatibwa buli nga 1 May, buli mwaka.
Mu ngeri yeemu President Museveni Tibuhaburwa era alabudde abantu abesenza muntobazi mu Bitundu bye Busoga okuzaamuka bunnambiro, banoonye ebifo ebirala gyebaba balimira omuceere
Museveni agambye bonna abakolera Muntobazi batekeddwa okuzaabulira banoonye ekibanja ewalala.
Ku ky’okukyusa embeera z’abantu, president abawadde bana Uganda amagezi okwekwata enkola ya Parish Development Model nti kubanga esobola okubataasa ku bbula ly’emirimu, olwo government essira aliteeke bintu ebirala ebireeta enkulakulana naddala okuzimba enguudo n’obuweereza obulala.
Minister avunanyizibwa ku Bakozi Betty Amongi ategezeza nti omuwendo gwabana Uganda abalina emirimu guli yadde yaddeko wadde nti n’abatagirina bangi naddala abavubuka.

Olunaku luno welutuukidde nga wakyaliwo okusoomozebwa mu mbeera y’abakozi omuli okusasulwa emisala emitono, obutabeera nandagaano zibakakasa ku mirimu , okutulugunyizibwa abakozesa n’ebirala.
Abakozi bangi aba government okuli Abasawo,abasomesa nabalala bazze bawanjagira abakulu mu government okufaayo ku mbeera gyebakoleramu n’okubongeeza emisaala naye nga tekikolebwa,nabakomekereza nga batadde ebikola wansi ekisanyalaza obuweereza
Mu mbeera yeemu nookutuuka kati Government ekyalemye okuleeta etteeka erirungamya emisaala gy’abakozi erya Minimum Wage Bill, ekireetedde abakozi bangi okuweebwa emisala egitaja mu mirimu gy’ebakola.
Emikolo Gino gyetabidwaalko Omumyuka wa president Rtd Maj Jessica Alupo, Ba Minister na ababaka ba Palamenti
Abantu 64 bawereddwa emiddali okubadde abasajja 48 ,abakyala 16 olwokukola obulungi emirimu okubadde Omutesisitesi omukulu mu Siga eddamuzi Pius Bigirimana , Professor Juma Wasswa Balunywa, Amina Zawedde omuteesiteesi omukulu mu ministry ya ICT nabalala.
Bisakiddwa: Ssebuliba Julius