Wabula Police ya Uganda egambye nti terina kyemanyi ku bannansi b’e Kenya 2 abagambibwa okubuzibwawo abakuuma ddembe, bwebali betabye ku zimu ku nkuηaana za President wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu zeyakuba mu Busoga.
Ababuzibwawo kuliko Bob Njagi ne Nicholas Oyoo.
Kigambibwa nti baakwatibwa abakuuma ddembe okuva mu mmotoka mwebaali batambulira era ne batwalibwa mu kifo ekitanategeerekeka ne gyebuli eno.
Omwogezi wa Police ya Uganda Rusooke Kituuma asinzidde Naguru nategeza nti nga police tebalina mawulire gonna gakwata ku bantu bano, era tewali kadduukulu ka police konna kebalimu okwetoloola e ggwanga#












