Ab’obuyinza mu district ye Koboko batandise omuyiggo g’Omuvubuka ategeerekeseeko erinnya limu erya Ivan, agambibwa okuba nti abadde akozesa emmundu n’ebyambalo bya UPDF okumenya amateeka.
Ab’obuyinza batemezebwako nti Ivan abadde alina emmundu kika kya Pistol gyabadde atambula nayo, awatali lukusa kuva mu bitongole byakwerinda.
Police n’amagye eyazizza omuzigo Ivan mwabadde asula esanzeemu emmundu kika kya Pistol, amasasi 78, sim Card 8, n’ekyambalo ky’amagye.
Abantu babiri okuli nnyini nnyumba Ivan kwabadde asula ayitibwa Zubeda Gisima ne Chandiga Francis munnansi wa South Sudan agambibwa okufunira Ivan ennyumba bakwatiddwa, bayambeko police mu kunoonyereza kweriko.
Omwogezi wa police mu West Nile Josephine Angucia asabye abatuuze mu bitundu obutasirikira bantu bakozesa bintu bya government nga emmundu nga ssi baserikale, kuba bangi baba bamenyi b’amateeka.
Bisakiddwa: Kato Denis