Amagye ne police gazinzeeko bitebe bya NUP okuli ekye Kamwokya ne Makerere, bannakibiina ababadde bagenda okwetaba mu kusabira eggwanga okubadde kutegekeddwayo tebakkiriziddwa kulinnyayo.
Abakulu mu NUP baabadde bategese okukuza olunaku luno olw’amefiga ga Uganda, okusabira banabwe abazze battibwa bukyanga kyesogga ebyobufuzi bya Uganda n’okusabira abali mu makomera
Ssabawandiisi w’ekibiina kya NUP David Lewis Lubongoya agambye nti ebikolebwa byonna ku kibiina kyabwe kabonero akalaga okutya,nti kubanga okusaba tekumenya mateeka gonna ate kubadde kutegekebwa mu kitebe munda so ssi ku luguudo
Lubongoya agambye nti ekibiina tekigenda kutuula butuuzi nga kikolebwako ebikolwa ebyefujjo.
Embeera ekyali ya bunkenke ku kitebe kya Nup e Kamwokya, nga police egobagana ne banna kibiina kino era abamu bakwatiddwa ababadde bazze ku kitebe okwetaba mu kusaba.
Ssaabawandiisi David Lewus Lubongoya n’Omwogezi w’ekibiina kino Joel Ssenyonyi oluvannyuma lw’okwogerako eri bannamawulire nabo bayooleddwa nebassibwa ku mmotoka za police nebatwalivwa.
Wabula amyuka omwogezi wa police mu Kampala n’emiriraano Luke Owesigire agambye nti abebyokwerinda bwebabeera balina kyebekengedde mu kitundu kyonna bateekawo abasirikale okukuuma emirembe nga bwebakoze ku bitebe bya NUP byombi mu Kampala.