Emmotoka ezibadde mu mbeera embi nga tezisaanye kubeera ku nguudo eziwera 1127 zikwatiddwa mu bikwekweto bya police mu wiiki emu, byebigendereddwamu okulwanyisa obubenje bwokunguudo.
Pikipiki 2217 ezibadde mu mbeera embi nazo zikwatiddwa, wamu nábagoba baazo 2267 abatabadde nabisaanyizo nabo bakwatiddwa nebasimbibwa mu mbuga zámateeka.
Omwogezi wa police yébidduka Micheal Kananura alipoota gyáyanjudde eraze nti mu wiiki emu yokka obubenje 437 bwebwaguddewo, 74 bwabadde ddekabusa era bwafiiriddemu abantu 87.
Micheal Kananura agambye nti obubenje buno bwavudde kukuvugisa kimama némmotoka okubeera mu mbeera embi.#