Police mu Kampala n’emiriraano ekutte abantu 8 ku bigambibwa nti babadde bakola ebicupuli bya ssente z’amawanga agenjawulo.
Abakwate ye Mukasa Ronald nga kigambibwa nti yabadde abakulembera, Mugumya Geey, Brian Abaho, Joel Kagame, Ogadi Ronald, Namuwaya Shadia, Segwayi Rodgers, ne Abu Mayanja.
Baakwatiddwa mu kikwekweto ekyakoleddwa ekitongole kya police ekya Crime Intelligence nga bagiddwa ku Nassar road ku kizimbi Kya Elite edduka namba A08.
Mu kikweekweeto kino Police esobodde okufuna ezimu ku ssente zebabadde bachupula okuli eza America,Bungereza,South Sudan,Kuwait,n’amawanga amalala.
Police era asobodde okufuna ebimu ku bintu byebabadde bakozesa okukola ssente z’ebicupuli bino, okuli empapula,langi, computer,printers, saako n’ebyapa by’ettaka ebijingirire.
Amyuka omwogezi wa police mu Kampala ne mirirano Luke Owesigire agambye nti bakyekennenya ebintu bino, era nga bakukolayo ebikwekweto ebirala.#