Police ekutte omusajja abadde yeyita Ssaawaabi w’emisango gya government, era oluusi nga yeyita mufti wa Uganda Sheik Shaban Ramathan Mubajje naakubiira abakungu abenjawulo n’ababbako ensimbi.
Kigambibwa nti ono abadde akyusakyusa amaloboozi era ng’akozesa essimu ezenjawulo naakubira abakungu mu wofiisi ya Ssaabawaabi w’emisango gya government nabalimbalimba nti alina muganda we agenda okufumbirwa era nti ayagala bamukwatireko, olwo bwebamuwereza ssente ku ssimu ze nabanyaga.
Akwatiddwa ye Ivan Kibahiro, asangiddwa ne layini z’essimu eziweerako zabadde akozesa okukubira abakungu nabanyagako ssente zabwe.
Police ono egenze omukwata nga waliwo omukungu mu wofiisi ya Ssaabawaabi wa government abadde yamuweerezza obukadde bw’ensimbi 8 omukwasizako ku mikolo.
Omwogezi wa police mu ggwanga Fred Enanga agambye nti Ivan Kabahiro ono era abadde atera okukozesa amannya ga mufti wa Uganda Sheik Shaban Ramathan Mubajje, naakubira abakulembeze b’obusiraamu abenjawulo ne bamuweereza ensimbi.
Ebyo nga bikyali awo, police ekutte abantu abagambibwa nti babadde bassa emisanvu ku nguudo ezenjawulo nga befudde abasirikale ba police y’ebidduka olwo ne banyagako abantu ensimbi zabwe.#