Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Buggu e Busaabala pikipiki bwekubye omwala ow’emyaka esatu nemuttirawo.
Kitegerekese nti pikipiki esse omwana yakitaawe nga yabadde yasimbidwa mu galagi yawaka omwana yayingidde mu galagi mukiro nalinya ku pikipiki eno nemusuula nemwebakira abazadde bagenze okununoonya mu kiro basanze omwana yafudde da
Tamale Denis taata w’omugenzi agambye nti entiisa emuguddeko tajilabanga
Kabuye Paddy ssentebe we kyalo kino Buggu agambye nti kikwasa enaku okubanga omwana agudde nga tewali ayinza kunenyezebwa.