Bannakisinde kya Patriotic League of Uganda PLU bakiise embuga, batonye ente 10 mu kuteekateeka y’ebikujjuko by’okukuza amatikkira ga Ssaabasajja Kabaka ag’omulundi ogwa 31.
Bakulembeddwamu omumyuka wa ssentebe w’ekisinde kino era muganda wa president Museveni ,Nuwagire Micheal Toyota Kaguta, Ssabawandiisi we kisinde David Kabanda ne minister omubeezi ow’abaana nabavubuka Balaamu Barugahara Ateenyi n’abakulu abalala.
Bwabadde akwasibwa Ente zino ku Mbuga enkulu eyobwakabaka mu Bulange Mengo kulwa Katiikiro wa Buganda, minister w’ebyobuwanga n’ennono embiri n’amasiro Owek. Dr. Anthony Wamala abasabye okubeera obumu n’okuwangana ekitiibwa olwo Obuganda bujja kusigala nga bunywevu, n’okukulakulanya eggwanga.
Owek. Anthony Wamala era ssentebe w’enteekateeka z’amatikkira ga Ssaabasajja aga 31, era abasabye okukolera abantu naddala ababulijjo okukyusa embeera zabwe ez’obulamu.
Omumyuka wa ssentebe w’ekisinde ya PLU mu ggwanga lyonna Micheal Nuwagira Toyota Kaguta era akulembeddemu enteekateeka yebazizza obwakabaka bwa Buganda okwaniriza buli muntu ewatali kusosola.
Minister omubeezi ow’abaana n’abavubuka Balaamu Barugahara Ateenyi agambye nti president Museveni musanyufu olwa Ssabasajja Kabaka okukomawo okuva e Namibia gyeyali ajanjabirwa nga mulamu bulungi, era namuyozayoza olw’okuweza emyaka 31 nga alamula Obuganda.
Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II yatikkirwa nga 31 July,1993 e Naggalabi Buddo, n’afuuka Kabaka wa Buganda 36, era aleese enkulaakulana nnyingi erabwako.