Akakiiiko ka parliament akakuba ttooki mu bakulu president w’eggwanga babeera alonze mu bifo ebyenjawulo, kasunsudde era nekakasa abakulu mu police babiri okuli Abbas Byakagaba eyalondebwa ku kifo ky’omudduumizi wa police n’omumyuuka we James Ochaya.
Akakiiko kano kabadde kakubirizibwa Sipiika wa parliament Annet Anitah Among, era nga mubaddemu n’akulira oludda oluwabula government mu parliament Joel Ssennyonyi Basekeezi, n’ababaka abalala wabula okusunsula tekukkiriziddwamu banamawulire.
Akulira oludda oluwabula government mu Parliament Joel Ssenyonyi ategeezezza banamawulire nti ensonga enkulu gyebasinze okusimbako essira y’embeera y’abasirikale ba police ab’amadaala ga wansi gyebasulamu, ababaka gyebaagala Ssabadduumizi wa police omuggya gyaba asookerako okusobozesa police okukola obulungi emirimu gyayo.
Abbas Byakagaba okulondebwa ku kifo kino yali awummudde emirimu gya police oluvanmyuma lw’endagaano ye ng’eyali director w’ekitongole Kya police ekirwanyisa obuttujju okugwako netazzibwa buggya.
James Ochaya y’abadde akulira ekitongole kya police ekya Research nokuteekerateeekera police.
Abbas Byakagaba azze mu bigere bya Martin Okoth Ochola eyawumula obuweereza gyebuvuddeko songa James Ochaya agenda kudda mu bigere bya Maj Gen Tumusiime Katsigazi munnamgyye eyazzeeyo mu UPDF.
Enkyuukakyuuka mu bukulembeze bwa police zijjidde mu kiseera nga police etubidde mu kusoomozebwa okwenjawulo okuli obumenyi bw’amateeka obweyongera mu ggwanga, bannansi okukendeeza obwesige bwabwe mu police , obuli bw’enguzi obufembekedde mu police, police okutuulira file z’emisango ,police okutyoboola eddembe lyabannansi, embeera yabasirikale embi gyebawangaaliramu saako akalulu akabindabinda ak’omwaka 2026 n’ebisoomozo ebikabeeramu.#