Parliament ya Uganda mu butongole ekungubagidde Owek. Joyce Ronvincer Mpanga, n’esiima emirimu gyakoledde eggwanga lino n’ensi yonna, naddala mu by’enjigiriza n’okulwanirira eddembe ly’obuntu.
Mu lutuula olwenjawulo olukubiriziddwa omumyuka wa sipiika Thomas Tayebwa, lutandise ku ssaawa munaana ez’emisana.
Ekiteeso ekisiima emirimu gy’Owek. Joyce Rovincer Mpanga kyanjuddwa Omumyuka wa Ssaabaminisita ow’okusatu Hajjati Lukia Nakadaama, kisembeddwa akulira oludda oluvuganya government mu Parliament Owek. Mathias Mpuuga Nsamba, minister w’ebyenjigiriza ebya waggulu Owek.J.C Muyingo, minister Persis Namuganza n’abalala.
Bamwogeddeko ng’omuntu eyalwanirira ennyo eddembe ly’obuntu, abakyala, n’ebyenjigiriza mu ggwanga, saako obukulembeze obutambulira ku democracy, era abadde omuzadde ow’obuvunaanyizibwa.
Minister w’ebigwateniraze Ecweru agambye nti abantu bangi ab’ebitiibwa mu ggwanga lino balemereddwa okukuza abaana mu mbeera y’obuntu; bakommonta ebiragalalagala abalala, abalala endabika yabwe teweesa kitiibwa.
Agambye Mpanga abadde muzadde ajjudde, nga kyeyolekera mu ngeri gyeyakuzaamu abaana be ate nebabeera bamugaso eri eggwanga.
Owek.Joyce Mpanga ye maama wa minister wa Buganda avunaanyizibwa ku by’ettaka n’amayumba.
Akulira oludda oluvuganya gavumenti Owekitibwa Mathias Mpuuga Nsamba agambye nti Owekitiibwa Joyce Mpanga yali mpagi luwaga mu kulwanirira democracy n’enfuga egoberera amateeka, nti wabula nti wafiiridde nga bingi byongera kudobonkana, omuli okudibaga ssemateeka, okulinnyirira eddembe ly’obuntu n’ebirala.
Mumbeera yemu Ow’ekitibbwa Mpuuga agamba nti Joyce Mpanga obulamu bwe bwonna alwaniridde nnyo obukulembeeze bw’ennono.
“Omulimu amatendo Owek. Joyce Mpanga gweyakola mu kuzzaawo obukulembeze obw’ennono gulijjukirwanga.
Obuweereza obuteebalira eri Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II nabwo tebuyinza kwerabirwa ku Owek. Joyce Mpanga”.Mathias Mpuuga
Minister Omubeezi avunanyizibwa kuby’enjigiriza na matendekero agawaggulu Owekitibwa JC Muyingo ategezeeza nti ensi efiridddwa omuntu omusomesa omukugu abadde yebuzibwako ku byenjigiriza by’eggwanga
Omubaka omukyala owe Dokolo Cecilia Ogwalo nga yawerezaako ne Joyce Mpanga mu Parliament, agambye nti ky’abadde asinga okumumanyaako nti abadde teyesembera nguzi, era ng’emuwunyira ziizi.
Ebyafaayo:
Joyce Rovincer Mpanga yazaalibwa nga 22 January,1933, naafa nga 18 November,2023.
Yasomera Gayaza Junior, Gayaza High, Makerere College, Makerere University (1953-1958), University of Indiana Bloomburg mu United States of America.
Abadde mubaka wa Ssaabasajja Kabaka mu lukiiko lwa Buganda okuva mu 2009.
Ye mukyala owokusatu ku bakyala abasooka okufuna degree mu mawanga g’obuvanjuba bwa Africa.
Ye yasooka okubeera omumyuka w’Omukulu w’esomero lya Gayaza High School.
Ye musomesa omukyala eyasooka okusomesa mu Makerere University.
Yaliko omukiise wa Uganda mu lukiiko lwa LegCo.
Yaliko omubaka wa parliament wakati wa 1996 – 2001 ng’akiikirira district ye Mubende.
Owek. Joyce Mpanga yaliko minister avunaanyizibwa ku nkulaakulana y’abakyala mu government eya wakati okuva mu mwaka gwa 1988 – 1989.
Yaliko minister omubeezi ow’ebyenjigiriza ebisookerwako wakati wa 1989 – 1992.#