Omujaasi wa UPDF Maj Opio Awany afiiridde mu bulumbaganyi bwa bbomu ekubiddwa mu luseregende lwa mmotoka olubadde lutwala ebikozesebwa mu nkambi eziri mu kifo ekyesudde kilomita 70 okuva mu kibuga Mogadishu.
Abajambula ba AL-Shabab bebagambibwa nti bebaakoze obulumbaganyi buno.
Maj Opio Awany mmotoka mweyabadde atambulira nga y’amagye yakubiddwa bbomu egambibwa okuba enkolerere, eyalese nga abajaasi abawerako balumiziddwa byansusso.
Omwogezi w’eggye lya UPDF erikola ebikwekweeto mu Somalia Capt Ibrahim Kasule Ssekitto, ategeezezza nti entekateeka z’okuzza omulambo zikolebwa, era nasaasira ab’engandaze ne bakamaabe.
Bisakiddwa: Kato Denis
1