Police etandise okunoonyereza ku ttemu eryakoleddwa ku mwana ow’emyaka 11 mu district ye Kiboga, n’ebimu ku bitundu by’omubiri gwe nebitwalibwa.
Omwana Namanda Olivia 11 abadde muyizi ku Fairway nursery School ku kyalo Buzibwera mu district ye Kiboga, yeyasangiddwa ng’attiddwa omulambo nga gutemeddwamu ebitundu 2, nga n’ebitundu bye eby’omunda tebirimu.
Kigambibwa nti omwana Ono yakoma okulabibwako mu town ye Kiboga ng’atembeeya kasooli omufumbe ku lunaku lwa monday nga 10 June,2024, era nti teyaddayo ewaka.
Bazaddebe baasalawo okwekubira enduulu mu bobuyinza abakoze omuyiggo okumunoonya nabula.
Kyokka nti omuvubuka eyabadde anoonya omuddo gw’ebisolo mu nnimiro y’omutuuze omu yeyasanze ebitundu bye nga byasuulidwa mu nsiko ku kyalo Kirurumba mu district ye Kiboga, kwekukuba enduulu eyasombodde abatuuze era nebategeeza ne police.
Omwogezi wa police mu bitundu bya Wamala etwala ne Kiboga, Racheal Kawala, ategezezza nti okunoonyereza ku batemu abakoze kino kutandise era nga beyambisa embwa yabwe enkonzi y’olusu, eriko omusawo wekinansi Madiinah Nakyeyune gwekutte neggalira ajiyambeko mukunonyereza.
Oluvanyuma ebitundu by’omwana bitwaliddwa mu ggwanika ly’eddwaliro e Kiboga.
Bisakiddwa: Alice Naggirinya