Ekika ky’Empologoma kifunye Omutaka omuggya ow’akasolya ye Namuguzi Lukanga Erukaana ne Lubuga we Suzan Nalwadda.
Azze mu bigere by’Omutaka Ndawula Wilson omubuze, agenda okuterekebwa ku butaka bw’Ekika ky’Empologoma e Lwadda mu Kyaddondo.
Omutaka Ssebuganda Namuguzi Lukanga Erukaana ayanjuddwa Katikkiro w’Ekika Omutaka Kireega Ddungu Kisekka, eri Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, ku mukolo ogubadde mu Bulange e Mengo.
Katikkiro asabye abazadde okwongera okumanyisa abaana ebyafaayo by’Ebika n’ennono za Buganda, kibe ekitundu ku birabo byebabawa mu bulamu wamu n’okubasomesa.
Minister w’Ebyobuwangwa n’Ennono mu Bwakabaka Owek Dr. Anthony Wamala,agambye nti wateekebwawwlo olukiiko olulondodde enteekateeka y’okufuna Namuguzi omubbulukuse , era nga olukiiko luno ensonga zonna zaalukozeeko bulungi ddala.
Katikkiro w’Ekika Kireega Ddungu Patrick, alambuludde ebikwata ku mutaka omubbulukuse era nategeeza Katikkiro nti Namuguzi omutuufu.
Bisakiddwa: Kato Denis