Omutaka Mutesaasira Jajja ow’akasolya k’ekika ky’Engo Namuyimba Tendo Kaaya Henry agattidwa mu bufumbo obutukuvu ne Kabiitewe Namuli Shamim.
Ssabasumba w’Essaza ekkulu erya Kampala Kitaffe Paul Ssemogerere y’Agasse abagole bano ku lutikko e Lubaga yebazizza Omutaka Mutesaasira olwokuteeka ekitiibwa mu bufumbo, era naasaba abafumbo bawangane ekitiibwa ate baagalane.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga bw’abadde ayogerako eri abantu ba Katonda abakungaanidde mu Lutikko e Lubaga mu kugattibwa kw’Omutaka Muteesaasira, yebazizza Omutaka Mutesaasira olw’Okubeera ekyokulabirako ekirungi eri Abataka naakuba ebirayiro, naasaba abazzukulu okukola nga jjajjaabwe.
Katikkiro era asabye abakugu mu byobulamu okubangula bannansi ekimala ku nkozesa y’enkola z’Ekizaala ggumba ezireetebwa abazungu
Agambye nti enkozesa y’enkola z’Ekizaala ggumba ezimu erina okwekeneenyezebwa ekimala obutakosa bannansi.
Abagole oluvannyuma lw’Okukuba ebirayiro mu Lutikko basembezza abagenyi baabwe ku Serena Hotel e Kigo akawungeezi ka leero.
Bisakiddwa: Kato Denis