Obwakabaka bwa Buganda butenderezza nnyo omukulu w’ekika kye Ngeye Omutaka Kasujja Kyesimba Kibirige Kakande Sheba ow’omunaana, olw’omulimu amakula eri emipiira gy’ebika bya Baganda.
Omutaka Kasujja yalondeddwa ng’Omutaka asiinze abataka bonna okujjumbira okulaba emipiira gy’ebika bya Baganda egy’omwaka guno 2025, wadde ekika kye eky’Engeye kyawandukira ku mutendera gwa ttiimu 32.

Omutaka Kasujja Kibirige Kakande Sheba yakwasiddwa ejinja erimusiima olw’omulimu guno, nga ekirabo kino omwaka ogwayita 2024 kya wangulwa omukulu w’ekika ky’Omutima Omusagi Omutaka Nakirembeka Eng Allan David Waliggo.
Mungeri yeemu ekika ky’Omutima Omusagi kyasiimiddwa nga ekika ekyasinze okuvuganya mu mizannyo emingi egy’ebika bya Baganda omwaka guno 2025, omubadde omupiira ogw’ebigere, okubaka, okusika omugwa, omupiira gw’abaana abato nabakulu, n’omweso.
Bazzukulu ba Nsamba abe Ngabi bazeemu okweddiza engabo ey’omupiira ogw’ebigere bwe bakubye bazukulu ba Lwomwa abe Ndiga goolo 6-5 eza peneti oluvannyuma olwokulemagana goolo 2-2 mu ddakiika 90 mu kisaawe e Wankulukuku.
Obuwanguzi bwe Ngabi bwagitutte ku mugatte gwa ngabo 6, Emmamba yekulembedde n’engabo 10 ate Olugave engabo 7.
Oluvanyuma lw’emipiira gy’ebika bya Baganda 2025 okukomekerezebwa, kakaano Obwakabaka obwanga bubwolekezza empaka za Masaza ga Buganda ezigenda okutandika nga 21 June,2025, era bannantameggwa b’empaka ezaasembayo aba Buddu bagenda kuggulawo nga bazuzumba ne Gomba mu kisaawe kya Kitovu Arena mu kibuga Masaka.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe