Omusomesa Musaazi Ivan n’omuyizi Mugerwa Charles owa S.3 ab’essomero lya Hope Intergrated Secondary School Kyetume mu district ye Lwengo bagudde mu luzzi olumanyiddwa nga olwa Kyawaggoonya lwebabadde bagenze okulwerula.
Sitenda John omu ku batuuze abazze okudduukirira agambye nti omuyizi y’asoose okugwa mu luzzi bw’abadde asika ebisubi nebimusiinza amaanyi n’agwayo.
Omusomesa alabye omuyizi alaajana kwekugenda amutaase, ettosi eriri mu luzzi neribakwata amazzi negabatwala.
Abayizi abalala balabye embeera ebasobedde kwekukuba enduulu esoombodde abadduukirize.
Omuduumizi wa police y’ekitundu Musaazi Godfrey alagidde abantu abalala obutagezaako kuyingira mazzi kunoonya baguddemu, okutaasa obulamu bw’abalala.
Agambye nti bakubidde ekitongole kya balubbira e Kampala basalewo eky’okukola.
Bisakiddwa: Mike Zzizinga