Abatuuze be Ggangu A ku luguudo lw’e Busaabala mu Makindye Ssaabagabo bagamba nti ekya government okubakolera oluguudo oluyita mu kitundu ekyo, kyekibataasizza omuliro ogubadde gugenda okusanyaawo ebintu byabwe.
Omuliro ogugambibwa nti guvudde ku kyuma ekisiika Chips gusaanyizzaawo ekifo ekisanyukirwamu ekimanyiddwa nga New Go Down ku kyalo Ggangu, wabula police eyanguye okutuuka okuguzikiza ekitaasizza abaliranyeewo.
Okusinziira ku bakozi mu kifo kino, amasannyalaze gaavuddeko ku ssaawa nga 11 nga busaasaana, abadigize abaabadde basuzeewo nebaaabuka, n’abakozi nebeebaka, wabula zibadde mu ssaawa nga 12 amasannyaaze negakomawo, wabula nga balabiddeewo ng’omuliro gutandika okukwata okuva mu kifo ewabadde ekyuma ekisiika chips, negusaasaanira ekifo kyonna.
Abatuuze b’ekitundu kino basanyukidde police ezze mu bwangu okuzikiriza omuliro guno, ng’embeera yonna bagitadde ku luguudo olwakoleddwa olwayanguyizza ebimotoka bya police enzinya mooto okubatuukako amangu.