Omuliro gusaanyizaawo ebbajiro e Najjanankumbi mu Lubaga municipality mu Kampala, ebintu nkumu bitokomose.
Mubaddemu ebibadde ebibajje, embaawo, ebyuma ebiranda n’ebirala ebikola emirimu egyenjawulo mu kubajja.
Police y’abazinnyamwoto eyambye okuzikiza omuliro guno ogubadde gutandise okukwata ennyumba z’abatuuze eziriraanyeewo.
Omuliro gukutte kinnya na mpindi ne Nnyondo pub, wabula tegunamanyika kweguvudde era nga wegukwatidde enkuba ebadde etonnya.
Kiyingi Ronald nnanyini bbajjiro eriyidde agamba nti wandiba nga waliwo ab’ettima abakoleezeza ebajjiro lye n’ekigendererwa eky’okumusiraanya.#