Omulabirizi w’e Namirembe Rt.Rev.Bishop Moses Bbanja akubirizza abakulisitaayo okukwasizaako government mu nteekateeka zeeriko okuzaawo obutonde bw’ensi, okutaasa eggwanga eribadde ly’olekedde akaseera akazibu.
Omulabirizi Banja agambye nti ekirowoozo kya government ng’eyita mu kitongole kya NEMA eky’okuzaawo obutonde bw’ensi obubadde butaaguddwa kirungi, wabula era agisabye erowooze ne ku ngeri gyeyinza okuyambako abantu ababundabunda abagobeddwa mu ntobazi naddala mubitundu byomu Lubigi.
Omulabirizi Moses Banja asinzidde mu kusaba n’okusaako emikono abaana abawerera ddala 450, mu kkanisa y’omutukuvu Matayo mu Busumba bwe Bbira mu bussaabadinkoni bwe Nateete.
Bishop Banja mungeri yemu era ategezezza nti ekkanisa ya Uganda nayo yakwenyigira butereevu mu lutalo lw’okuzaawo obutonde bwensi, nga Kati buli mirimu egyinaakolebwanga mu kkanisa, gyakukulemberwangamu okusiimba emiti.
Akubirizza abakulisitaayo okukola ekintu kyekimu mu maka gaabwe.
Ssabadinkoni we Nateete Ven. Canon Godfrey B.K Buwembo ategezezza nga omuwendo gw’abantu abeeyongedde okusenga munbussabaddinkoni buno, bubongedde amaanyi okutandikawo amakkanisa amalala .
Omusumba w’Obusumba bw’e Bbira Rev. Ssalongo James Lubega yeebaziza abakulisitaayo mubusumba bwakulembera olw’okukwatira awamu obusumba buno okubeera ekyokulabirako.
Mungeri yemu ssentebe w’akakiiko k’eddembe ly’obuntu mu Wakiso Elly Kasirye era nga yemuwanika w’Obusumba buno asiimye bannaddiini okuvaayo okwenyigiramu nsonga z’okutaasa nookuzaawo obutonde bw’ensi.
Bisakiddwa: Ngabo Tonny