Ekereziya Katolika mu Uganda ebikidde abakiristu bonna n’eggwanga lyonna okutwaliza waamu okufa kw’Omutukuvu Paapa Francis, omutonzi gweyajjuludde kumakya ga 21 April,2025.
Paapa afiiridde ku myaka 88 ngera amaze ku bwa papa emyaka 12.
Paapa Francis ng’amannya ge amazaale yali ayitibwa Jorge Mario Bergoglio enzaalwa ya Argentina yalondebwa nga Paapa nga 13 March,2013.
Paapa Francis yasembyeyo okulabikako eri abakristu mu missa y’okujaguza Ppaasika ya 2025 mu St.Peter’s Square Basilica era yayogeddeyo ebigambo bibale, ebisigadde nabirekera abayambi be.
Omubaka wa Paapa mu Uganda, Ssabasumba Luigi Bianco, yabikidde yabikidde ekereziya mu Uganda, ng’obubakabwe busomeddwa Director w’ebyamawulire mu Ssaza ekkulu erya Kampala Rev Fr Joseph Mukiibi kulwa Ssabasumba w’esaza lino, Kitaffe Paul Ssemogerere.
Mungeri yemu, Fr Mukiibi asomye n’obubaka bwa Ssabasumba we Ssaza ekkulu erye Kampala, Kitaffe Paul Ssemogerere, asabye abakristu bonna nebanayuganda balindirire okulambika kwa Ekerezia ku nteekateeka y’okukungubaga n’okuziika.#