Akaseera konna okuva kati olusirika lw’abakiise mu lukiiko lwa Buganda lutandise ku Maria Flow mu kibuga Masaka essaza Buddu.
Olusirika luno lugenda kutambulira ku mulamwa ogugamba nti “Obuvunanyizibwa Bw’olukiiko mu kusitula embeera z’abantu mu Buganda”.
Lugenda kuggulwawo Kamalabyonna wa Buganda munnamateeka Charles Peter Mayiga.
Okusinziira ku minister w’olukiiko ne cabinet Owek Noah Kiyimba abakiise baakulambikibwa mu buvunanyizibwa bw’olukiiko mu kusitula embeera za Bantu mu Buganda.
Mu ngeri yeemu bakulambikibwa ku ngeri y’okuteekesa mu nkola Nnaamutaayiika omuggya eyayisibwa owa 2023-2028.#