Obwakabaka bwa Buganda nga buli wamu n’ekitongole kya Mukisa Foundation ne Special Childrens bakuzizza olunaku lw’abaliko obulemu, nebakubiriza abaana obutenyooma.
Olunaku luno lukulembeddwamu akakiiko aka Buganda Disability Council, lutuumiddwa the 9th awareness and fun day for children with disabilities.
Ebitongole eby’enjawulo birwetabyemu era birukulizza mu Ssaza Bulemeezi.
Omukwanaganya w’emirimu mu Ministry y’ekikula ky’abantu mu Bwakabaka Teddy Nabakooza Galiwango nga yakiikiridde Minister Owek Mariam Mayanja Nkalubo, asabye abazadde okwongera okufaayo eri abaana abaliko obulemu n’okubatwalira awamu ng’abaana abalala mu nteekateeka zonna ezikolebwa mu maka, amasomero n’ebifo ebirala byonna.
Ssentebe w’olukiiko lwa’abaliko obulemu era abakiikirira mu lukiiko lwa Buganda Owek. Dr. Vincent Ssennabulya akubirizza abaana obuteenyooma n’asaba abazadde obutakweka baana wabula babalage ensi era bayambe okuzuula emukisa gyebalina.
Ssentebe wa Special Children Trust ne Mukisa Foundation Florence Namaganda asabye government okwongera abasawo abakugu mu malwaliro, abaliko obulemu bafune obujjanjabi obumala era obw’omutindo.
Bisakiddwa: Naluyange Kellen