Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye ebika byonna mu Bwakabaka okunnyikiza kaweefube w’Okuteeka ebyafaayo byabyo mu buwandiike, kiyambe emirembe egiriddako obutasomoozebwa.
Bwabadde yeetabye ku ky’emisana kwasiibulidde abakungu mu Kooti ya Kisekwa omubadde Omuk Joshua Mathew Kateregga Kisekwa abadde ssentebe waayo, Omuk Lubega Ssebende ,Omuk Salim Makeera, Omuk Samuel Walusimbi, Omuk Jamil Ssewanyana n’Omuk Wilson Ssentoogo mu Butikkiro, Katikkiro agambye nti emirimu gya Kkooti ya Kisekwa ssimyangu, kuba gijjuddemu Okunoonyereza okutali kwa bulijjo.
Katikkiro mu ngeri eyenjawulo yebazizza abaweereza abawummudde olw’okukolera mu bwerufu wakati mu kusomoozebwa, era nabeebaza Okunoonyereza kwebazze bakola okutaawulula enkaayana mu bika.
Katikkiro akiggumizza nti ebika lye limu ku masiga okutudde Obuganda, n’olwekyo lirina okukuumibwa nga teriyuuga.
Minister w’Obuwangwa n’Ennono, Embiri n’Ebyokwerinda mu Buganda Owek Dr.Anthony Wamala ng’akiikiriddwa Owek Cotilda Nakate Kikomeko yebazizza abaweereza mu Kkooti ya Kisekwa olw’okukozesa Obumanyirivu obusukkulumu mu nkola y’Emirimu.
Omuk Joshua Mathew Kateregga Kisekwa awummudde yebazizza Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II olw’Okusiima naamulagira Okulamula Kkooti ya Kisekwa, Okumala emyaka 11.
Olukiiko lwa Kooti ya Kisekwa oluwumudde, lusembyeyo na kuwa nsala eyimirizza abadde Omukulu w’Ekika ky’Effumbe Walusimbi Yusuf Mbirozankya, oluvannyuma lw’okukizuula nti yewangamya n’Okweremeza mu Ntebe y’Obukulu bw’Ekika ky’Effumbe, ng’akimanyi bulungi nti tava mu Kisitu Ntege Walusimbi eyatandika ekika ky’Effumbe.
Kooti yategeeza nti Omutuba gwa Ssaabalangira Kasolo , Yusuf Mbirozankya mwava tegulina kulya bwa Walusimbi, era ssi gwa Nnono ya Kika kya Ffumbe.
Bisakiddwa: Kato Denis