Olukiiko lwa Buganda olukulu lwanirizza enyinyonyola Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga nÓmulangira David Kintu Wassajja nÓmutaka Namaama Augustine Kizito Mutumba ku nsonga ezikwata ku bujjanjabi bwa Ssaabasajja Kabaka.
Gyebuvuddeko abasatu bano baafulumya ekiwandiika ekinnyonyola ku bulamu bwa Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, nebategeeza nti Omutanda ali mu ggwanga lya Namibia gyeyagenda okuwummulako ng’abasawo bwebamulondoola, era nti ssimuyi nga bwebibungeesebwa abantu abenjawulo okuyita ku mutimbagano
Mu lukiiko olukubiriziddwa sipiika Patrick Luwaga Mugumbule n’omumyuka we Owek. Ahmed Lwasa, lusabye abantu ba Kabaka okugoberera ebyo byokka ebifulumizibwa Katikkiro nÓbwakabaka ku nsonga ezikwata ku bulamu bwa Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda MutebI II.
Olukiiko lweyanzizza nnyo Ssaabasajja Kabaka olw’okusiima emirimu emingi egyÓbwakabaka egitambuzibwa newankubadde yye ali bweru wa ggwanga.
Olukiiko luvumiridde mu ngeri engenderere ey’okuvvoola ekitiibwa kya Namulondo nékitibbwa kya Buganda, ng’ababikola baluubirira okutuukiriza ebigendererwa byabwe eby’obufuzi.
Olukiiko lusabye bannabyabufuzi okukomya omuze ogw’okusiigagana enziro ,wabula babeere bantu balamu era babeere nÉnsa nga batambuza ebyobufuzi kibayambe okuwuliziganya.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga mu ngeri eyenjawulo alabudde ne ssekulabula bannabyabufuzi abasazeewo okufuula Ssaabasajja Akajji k’ebyobufuzi nókunonyezaako obuwagizi, ate nga bavvoola ekitiibwa kye.
Agambye nti abantu be bamu Kabaka bweyali tanatwalibwa bweru nga bagamba nti atwalibwe ebweru w’eggwanga ajjanjabibwe, kyokka bweyatwalibwa, ate nebatandika yawambibwa era nti bamwagala okumulaba.
“zibasanze abakozesa Kabaka ng’akapiira nga bazannya eby’obufuzi byabwe, era tubalaba tubataddeko amaaso abiri. Abantu bano mubamanyi, kambagambe nga mukulu wammwe ssibalungi”
Katikkiro agambye nti abantu basaanye okuzannya eby’obufuzi ebirimu ensa, nti kubanga eby’obufuzi ebya kaweereege biringa mata, kubanga bibiimba nebikka.
Olukiiko lukakasizza era neruyisa entekateeka yÓbwakabaka Namutayiika eyÓmwaka 2023-2028.
Olukiiko lwerumu lusiimye emirimu egyÓmuzinzi egikoleddwa wamu nébituukiddwako mu mwaka gwébyensimbi 2023/2024.
Olukiiko luyisizza embalirira yÓbwakabaka eyÓmwaka gwebyensimbi 2024-2025 eyÓbuwumbi 257.
Katikkiro wa Buganda Owek Charles Peter Mayiga asinzidde mu Lukiiko naalabula abalimi bÉmwaanyi okukomya ettamiiro, lyagambye ntii lisinze kuva ku nsimbi ezivudde mu mwaanyi ezitundiddwa.