Olukiiko lwa ba Minister lukkirizza ministry yebyamasanyalaze okutandika okuzimba omudumu gw’amafuta okuva e Hoima mu Bunyoro okwolekera e Tanga mu Tanzania, nga betegekera okutandika okuyiikula amafuta ga Uganda.
Amafuta gano government egalinamu essuubi ddene okuyamba okukulakulanya eggwanga.
Enteekateeka y’okusima amafuta ebadde ekyaliko okusika omuguwa, era nga n’ababaka ba parliament y’omukago gwa Bulaaya baali baajisimbira ekkuuli nti erimu ebirumira, okutyoboola eddembe lyobuntu nga bannansi bangi tebasasulwa ssonga n’obutonde bwensi tebwalowoozebwako kimala.
mukwanaganya w’omulimu gw’okuzimba omudumu guno mu ministry yeebyamasanyalaze Eng. Hebert Magyezi Mugizi abadde ku Uganda Media Centre mu Kampala, n’anyonyola nti abantu abasoba 4,000 bebaakaliyirirwa mu bitundu omudumu gw’amafuta gyegugenda okuyita.
Bali mu district ye Kakumiro, Kikube, Hoima, Mubende, Kyotera naawalala era omudumu guno gugenda kubeerako kiro miter 296.
Eng. Hebert Magyezi Mugizi agambye nti mu kiseera kino abantu abawera ebitundu 32 ku buli 100 bebakyabulayo okuliyirirwa, era nti basuubirwa okusasulwa ng’omwaka guno tegunaggwako.
ngera bano bagenda kubeera bamaze okubasasula ng’omwaka guno tegunaba kuggwako.
Eng. Magyezi era agambye nti omulimu gw’okuzimba omudumu ogugenda okutambuza amafuta gugenda kutandika obutassuka mwezi gwa December omwaka guno 2023.