Abantu okwewaayo okukola ebintu ebisobola okuganyula abalala, sso ssi kwefaako bokka, kyekigenda okusitula abavubuka.
Eno yeemu ku nteekateeka ekoleddwa okusitula abavubuka mu Buganda, okulwanyisa obwavu n’ebbula ly’emirimu.
Minister wa Buganda ow’abavubuka ebitone n’ebyemizannyo Owek.Robert Sserwanga Ssalongo, ng’asinziira mu ppulogulamu Ggakuweebwa munno ku CBS radio y’Obujajja 88.8, nga 12 November,2024 okuva ku ssaawa 4 okutuuka ku ssaawa 6 ez’ettuuntu.
Mu ntegeka eno Obwakabaka butegese ensisinkano y’abavubuka abalina obukugu obwenjawulo(young proffessionals) nga 29 November,2024.
Ensisinkano eno yakutema empeenda ez’okwongera okutangaaza emikisa gyabwe mu byebakola.
Mjnister agambye nti waliwo obuzibu bw’omuvubuka okumatira amangu n’omulimu ogwo gwakola, ng’alowooza nti emikisa gye gikoma awo, kw’ebyo ebimwetoolodde ate n’atamanya nkozesa yabyo esobola okuvaamu emiganyulo.
Waliwo Okuddamu okuzimba essuubi lya Buganda, ng’abavubuka basisinkana okukola emikago egisobola okuzaawo essuubi lya Buganda n’okukulaakulanya abavubuka kinnoomu;
-Okumanya engeri gyebasobola okukolera awamu okugasa abantu abalala.
-Okozesa otya obukugu bwo okuyamba abalala, nga wenyigira mu nteekateeka ezenjawulo ezisiimbye mu bintu byewakugukamu.
-Okulwanyisa obwavu n’ebbula ly’emirimu mu Buganda n’ebirala.
Nnamutaayiika wa Buganda owa 2023 – 2028 alambise nti abavubuka balina okuteekebwateekebwa n’okwerirwa emikisa, n’okumanya ebibeetoolodde okubaako byebakola okwekulakulanya.
“Omuvubuka genda ewali enkwanso y’emirimu, era buli mulimu ogukuweereddwa gukole bulungi emikisa gigende okweyerula, nga wooli era ng’osobola okugyekwatako”
Obutonde bw’ensi, eby’obulambuzi, eby’obulimi, embeera y’ebyalo ekyali emabega n’ebirala birina okussibwako essira emikisa gyegiri okufunira abavubuka emirimu.#