Leero ennaku z’omwezi 24 May,2022, lwegiweze emyaka 56 bukyanga magye ga Milton Obote galumba Olubiri lwa Ssekabaka Fredrick Muteesa ll.
Obusambattuko bw’olunaku obwo bwaviirako okuwangangusibwa kwa Ssekabaka Muteesa II, amaggye negezza olubiri lw’emengo era nerufuulibwa enkambi,saako ekitebe ekikulu eky’obwakabaka ekya Bulange, government yakyezza era nekifuulibwa Republic house.
Obwakabaka bwawerebwa, ebitebe by’amasaza n’amagombolola n’ettaka lya Buganda lingi lyatwalibwa government, eddala neritwalibwa abasaatuusi.
Wabaddewo okusaba okwenjawulo okujjukira, n’okwedumiitiriza ku jjoogo n’effujjo eryakolebwa ku bwakabaka bwa Buganda, era n’okusabira Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II.
Okusaba kukulembeddwamu dean wa Lutikko e Namirembe, Ven. Canon Jonathan Kisawuzi Ssalongo, nayogera ku maanyi ga Ssabasajja Kabaka eri abantube n’obuganda bwonna, nasaba Katonda ayongere okukuuma omuteregga alumule ensi ye.
Obwakabaka bwa Buganda bukinoganyizza nti kati kawefube gwe buliko kwe kulwana okuzzaawo ebyaffe byonna ebyanyagibwa, okuviira ddala mu busambattuko obwaliwo mu mwaka gwa 1966.
Bino bibadde mu bubaka bwa Katikkiro wa Buganda Charles Mayiga, bwatisse omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda Owek Patrick Luwaga Muggumbule.
Katikkiro agambye nti abantu ba Buganda basaanye okwekuuma nga bali bumu, bwe babeera bakuzza Buganda kuntiko ate n’obutekubagiza kuba Ssabasajja Kabaka mwali alamula obuganda.
Omulangira David Kintu Wassajja ku lw’olulyo olulangira, atenderezza abo bonna abaafiira mu busambattuko obwoolw’omutima gwa Buganda ogutafa gwebaayolesa.
Asaba abantu ab’omulembe guno okukuza abaana baabwe nga bamanyi obuvunanyizibwa bwabwe eri obwakabaka.
Omukolo guno gwetabiddwako Ssanabalangira Godfrey Kikulwe Musanje Ngobe, Omulangira Daudi Ggolooba, ba Katikkiro abaawumula Mulwaanyammuli Ssemwogerere ne Daniel Muliika, baminister bakabaka, abaami bamasaza, bajjajja abataka ab’obusolya n’abantu abalala bangi.