Obwakabaka bwa Buganda budduukiridde abantu abaakosebwa okubumbulukuka kwa kasasiro e Kiteezi, ebawadde ebikozesebwa mu bulamu obwa bulijjo.
Ekifo kye Kiteezi KCCA gyeyali eyiwa Kasasiro eyabuumbulukuka natta abantu abasukka mu 34.
Ebimu ku biweereddwaayo mubaddemu emmere ezimba embiri gy’Abaana abato, Ebyokwebikka omuli Bulanketi, Emifaliso, Emmere enkalu omuli Obuwangwa, Emigaati ,Enku, Ebikozesebwa abakyala mu biseera byabwe ne kalonda omulala mungi.
Bwabadde asisinkanye abantu mu nkambi ya Uganda Red Cross society esangibwa ku ssomero lya Kiteezi Church of Uganda primary school, Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga, azizaamu abantu ba Ssemunywa amaanyi nti Ssaabasajja ebizibu ebibanyiga abimanyi, era naabasaba obutaggwaamu Ssuubi.
Katikkiro ajjukizza government ku ntekateeka etegeerekeka erina okuyitwamu okuteekawo ebyuma ebyokya Kasasiro n’Okumukolamu ebyamakulu nga Ebijimusa, plastic n’Amasannyalaze, kiyambeko ne mu kuwa Abavubuka emirimu okwekulaakulanya.
Abakulu mu Nkambi ekwaasaganya embeera zababundabunda mu Red Cross, nga bakulembeddwaamu amyuuka Omwoogezi wa Red Cross John Cliff Wamala, bategeezezza nti omuwendo gw’abantu abakyakuumibwa mu Nkambi gugenze gukendeera, era mu kiseera kino abantu 80 bebakaabulira enkambi, Ssonga 261 bebakyakuumibwa mu kifo ekyo.
Omwami wa Kabaka atwaala essaza Kyaddondo, Kaggo Haji Ahmed Magandaazi, asabye wabeewo enkola ennungamu eneyitwaamu okubudaabuda abantu abakyaali mu nkambi, kuba ennaku ebali ku mitwe nnyingi, era ssinga tebayambibwa eyinza okubatabula.
Abamu ku Bantu abakyali mu nkambi Okusiga beebo abaamenyebwa Ennyumba awaayita mmotoka wetiiye ezinoonya abakyaabulidde mu Kasasiro, era bategeezezza nti bakooye enkambi, nga baagala baliyirwe bagende awalala, songa naabo abaali bapangisa mu nyumba ezaamenyebwa embeera bagamba ebayinze.
Omubaka akiikirira Kyaddondo East mu Parliament Nkunyingi Muwada asabye wabeewo Obwenkanya mu Kuliyirira bonna abaakosebwa.
Mungeri yeemu ekitongole ki Caritas Uganda nga kikulembeddwamu Fr.Hillary Muheezangango nga bali wansi w’Ekitongole ekirabirira Abaana ki childcare and emergency relief program, nabo bawaddeyo obuyambi omuli Emmere, Ssabbuuni n’Engoye ebibabirirwaamu ttani nnya, era asabye abalina Obusobozi okukwasizaako abetaavu e Kiteezi.
Bisakiddwa: Kato Denis