Obwakabaka bwa Buganda butongozza enteekateeka nnamutaayiika enagoberwa mu kuku𝝶aanya abibalo ebikwata ku bantu nébintu ebyenjawulo ebiri mu bwakabaka.
Enteekateeka eno yébibalo Namutaayiika owémyaka etaano atandise mwaka guno 2022 okutuuka 2026.
Omumyuka asooka owa Katikkiro wa Buganda Owek Haji Dr Twaha Kawaase yátongozza enteekateeka eno, ku mukolo ogubadde mu Bulange e Mengo.
Owek. Kawaase asabye abavunaanyizibwa ku bibalo mu Bwakabaka, okuteeka mu nkola Namutayiika ono agendereddwamu okumanya obungi bwábantu mu Buganda nébyetaago byabwe, o kukwasizaako government okusitula embeera zábantu.
Okwogera bino abadde atongoza Namutayiika wébibalo mu Bwakabaka ow’Omwaka 2022/2026 omukolo gubadde mu Bulange e Mengo.
Owek Kawaase agambye nti ebibalo kiyambako mu kwanguyiza government okutekerateekera abantu babwo, nebafuna obuweereza obusaanidde.
Omumyuka owookubiri owa Katikkiro wa Buganda Owek Robert Waggwa Nsibirwa agambye nti Namutayiika ono wakuyambako Obwakabaka okugaziya entekateeka y’Obwakabaka ey’Okuteekerateekera abantu, okutuukira ddala ku byalo.
Enteekateeka eno yakuzingiramu ebintu byonna ebikwata ku buli ssaza lya Buganda, abantu, ebintu némbeera endala zonna.
Ssentebe w’Olukiiko oluwabuzi olw’ekitongole ky’ebibalo mu Buganda Dr ESK Muwanga Zaake, yebazizza Obwakabaka okukwasizaako ekitongole ky’ebibalo mu nkola yakyo ey’emirimu, mungeri eyenjawulo naasaba obukulembeze obwennono obulala, okulabira ku Bwakabaka okutandikawo ekitongole ky’ebibalo, ekigenda okwanguyizaako government emirimu.
Ssenkulu w’ekitongole ky’ebibalo mu ggwanga ki Uganda Bureau of statistics Dr. Chris N.Mukiza,agambye nti obukugu Buganda bweyayolesa obwokutondawo ekitongole ky’ebibalo buviiriddeko obukulembeze bw’ennono obulala, okuyayaana okugunjaawo ebitongole by’ebibalo, ekigenda okwanguyizaako government okutekerateekera abantu mu budde.
Dr Mukiza asuubizza okuwagira Obwakabaka naddala abaami b’emiruka ngábatonera computer zebanaakozesa okutereka obulungi emiwendo n’ebibalo ebiku𝝶aanyiziddwa.
Mu ngeri yeemu asuubizza Obwakabaka okuweerezaayo omukugu wabwo ow’ebibalo anakiika ku kitongole kya government ki UBOS.