Obunkenke bweyongedde ku ttaka ly’ ba Scout erye Kaazi Busabaala mu Wakiso, abeyita banannyini ttaka lino bongedde okulisibako akaguwa okulyetoloola lyonna.
Abascout ababadde bagenze okulirambula basanze liteekedddwawo akaguwa era nga kuteekeddwako obubaka obubagaana okusaalimbira mu kitundu ekibadde kisibiddwa.
Abakulembeze b’aScout mu Uganda, mu Kibiina kyabwe ekibagatta ekya Uganda Scout Association, baweze nkolokoto nti tebagenda kukkiriza banakigwanyiza okusalimbira ku ttaka lyabwe nga balaba, era akaguwa balese bakakutuddewo.
Dr.Margie Kigozi nga yomu ku bayima baba Scout mu Uganda, agambye nti ettaka lyabwe lino liwezako yiika 120 era nga lyabawebwa Ssekabaka Daud Chwa, nti naye werutukidde olwaleero nga tebamanyi bunene bwebasigazizawo, kubanga erisinga obunene lyawaambiddwa banakigwanyizi.
Mu lukungaana lwa bannamawulire lwebatuuzizza e Kaazi agambye nti ebizibu by’ettaka lino ebisinga obungi byatandika mu biseera by’omuggalo gwa Covid 19, abantu abalina olukujjukujju bwebaakozesa ekiseera ekyo nebatunda ettaka ly’abascout.
Kigambibwa nti abamu ku baaliko abakulembeze ba Uganda Scouts Association beberimbika mu bwannanyini bw’ettaka eryo nebalitunda.
Nyinamahola Alice Chief Commissioner wa Uganda Scouts Association, agambye nti ekibaluma bebamu ku banakigwanyizi abesenza ku ttaka lyabwe,okuba nga babalemesa okukolerako emirimu gyabwe, nga babatiisatiisa okubakuba amasasi.
Agambye nti nakigwanyizi omu yasooka kuwamba Kitundu Kya Lutobazi era naatandika okuzimbamu, bwebeekubira enduulu mu Parliament mu kakiiko ka Cosase nekayita NEMA, era NEMA yasinzira wano neyimiriza eby’okuzimba, nti naye negyebuli eno akyazimba ate nga bwayongera n`okuwamba ettaka lya ba Scout eddala.
Bisakiddwa: Musisi John